TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abasajja 2 bakaayanira omwana w’omubaka eyafa

Abasajja 2 bakaayanira omwana w’omubaka eyafa

By Kizito Musoke

Added 18th August 2017

ABA famire y’omugenzi Hailat Grace Kaudah eyali omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Iganga nga beetegkera okusoma dduwa y’ennaku 40 bukya afa, omusajja omulala avuddeyo n’ategeeza nti kitaawe w’omwana omugenzi gwe yaleka.

United 703x422

Mugisha, wakati y'omugenzi Kaudha ate ku ddyo ye Toto bwe bakaayanira omwana (ali mu katono)

Ibrahim Toto y’abadde amanyiddwa nga bba w’omugenzi.

Omulambo gw’omugenzi bwe gwatwalibwa e Iganga baagutuusiza mu maka ga Toto.

Mu kuziika, Toto yayanjulwa nga bba w’omugenzi era n’ayogera ku mukwano gwe yalina n’omugenzi eyali yamwanjula mu bakadde be mu 2011 ne bazaala n’omwana.

Sadique Ali Mugisha, omusuubuzi w’omu Kampala ne Iganga era ng’asuubula ne Dubai, agamba nti Hailat yali mukazi we nga babeera bonna e Kitintale mu Kampala gye yali yamupangisiza ennyumba.

Agamba nti omwana omu omugenzi gwe yaleka yali wuwe nga ne famire y’omugenzi bakimanyi bulungi.

Yategeezezza nga bw’ali omwetegefu okugenda mu musaayi bamukebere nga tayinza kukkiriza musaayi gwe kuzaawa ng’alaba ng’ate ekituufu akimanyi.

Yategeezezza nti we yafunira Hailat yamutegeeza nga bwe yali yayagalanako ne Toto, kyokka ne baawukana.

Eky’okuba nti yali yayagalako omusajja omulala tekyabagaana kugenda mu maaso n’omukwano gwabwe era omwana gwe baazaala baamutuuma Amaal nga ge mannya ge bayita omwana ono.

Agamba nti bw’abadde tali ku mirimu gye egy’okusuubula ng’abeera ne mukyalaawe era omukwano gwabwe gwali gwakimmemmette nga n’abantu bagumanyi.

TOTO ABADDE BBA WA BYABUFUZI

Mugisha agamba nti,omwana ne bw’omulaba taliimu musaayi gwa Toto ogw’Ekiyindi.

Afaanana bulungi n’abaana be abalala, kuba ye musajja mweru n’abaana azaala beeru.

Yagambye nti omugenzi bwe yafuna ekirowoozo ky’okwesimbawo ku bubaka bwa Palamenti yeesanga ng’ali mu buzibu ku ngeri gy’okumatizaamu abalonzi ku bba.

Ekisooka abalonzi bangi baali bamanyi nti Toto ye bba era nga yamwanjula, wadde nga baayawukana.

Yakiraba nga bw’anaagenda mu kalulu n’omusajja omulala, abamuvuganya mu byobufuzi baali bayinza okukitaputa obulala ne bakikozesa ng’ekyokulwanyisa okuttattana erinnya lye.

Ekirala yakiraba nga Mugisha engeri gy’azaalibwa mu kitundu ky’Obugwanjuba bwa Uganda , abalonzi be Busoga baali bayinza obutakiraba bulungi olw’okubalekawo n’anaayiza omusajja ow’ewala.

IBRAHIM TOTO ABIYISE BYABUFUZI

“Ensonga zino kye ndaba mulimu ebyobufuzi kuba neebuuza lwaki bizze mu kiseera kino nga tuli mu kampeyini za kujjuza kifo ekyalimu Kaudah.

Sisuubira nti mwandibadde mumbuuza bino mu kiseera kino, era mukimanye nti sisobola kwogera ku nsonga za bulamu bwange ez’ekyama mu baamawulire.

Kye mmanyi nti omwana tewali yeemulugunya nti wuwe era simanyi lwaki mmwe abaamawulire mubirondoola, era kye ndaba muwandiike bye mwagala.” Toto bwe yategeezezza.

MAAMA W’OMUGENZI KY’AGAMBA

Hajjat Sauda Bwenene, azaala Kaudah bwe yatuukiriddwa ku ssimu yagambye nti ensonga ezo za famire eziteetaaga kwogera ku ssimu.

Yagambye nti talaba nsonga lwaki ensonga eza famire abaamawulire baagala okuziwandiikako.

Kyokka yagaanyi okugaana wadde okukkiriza oba omwana omusajja amukaayanira ye kitaawe omutuufu.

KAUDAH YAFIIRA MU DDWAALIRO E KAWEMPE

Hailat Grace Kaudah yali mubaka omukazi owa disitulikiti ye Iganga, eyafa mu kiro ku Lwokutaano nga July 8, 2017.

Yafiira mu ddwaaliro e Kawempe gye yali addusiddwa oluvannyuma lw’okutawaanyizibwa olubuto.

Yafiira ku myaka 30 gyokka era nga kye kyali ekisanja ekisooka mu Palamenti.

Embeera y’obulwadde yatabuka n’addusibwa mu kalwaliro akamu e Kitintale, gye yaggyibwa n’atwalibwa mu Case Clinic, ate gye baamuggya okumutwala e Kawempe, gye yafiira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....