TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukungu w'ekitebe kya Egypt mu Uganda bamukutte n'amasanga g'enjovu

Omukungu w'ekitebe kya Egypt mu Uganda bamukutte n'amasanga g'enjovu

By Samuel Balagadde

Added 18th August 2017

OMUKUNGU ku kitebe kya Uganda mu ggwanga lya Egypt akwatiddwa n'amasanga g'enjuvu, obuwanga bw'ebisolo ebirala ssaako n'amayembe g'ente.

Ivory22 703x422

OMUKUNGU ku kitebe kya Uganda mu ggwanga lya Egypt  akwatiddwa    n'amasanga  g'enjuvu, obuwanga bw'ebisolo  ebirala  ssaako  n'amayembe g'ente.

Hussein Afraidah yakwatiddwa ku Lwokubiri mu maka ge e Kamwokya  n'amasanga   agasussa kiro 199 oluvannyuma lwa bambega ba  URA  okumulinnya  akagere okumala ekiseera.

Vincent Seruma omwogezi w'ekitongole kya URA  yategeezezza  ku Lwokuna nti Hussein yakwatiddwa poliisi  wabula olw'okuba mukungu ate ng'alina eddembe  erimuweebwa okweyimirirwa  yateereddwa  ku kakulu ka poliisi nga  n'okunoonyereza    bwekugenda mu maso.

Yagambye nti agamu ku masanga  yabadde atandise okugakolamu ebintu  ng'okugatabika mu mayembe  g'ente ng'agezaako  okuzaabuza kuba amayembe  g'ente  gakkirizibwa  okutambuzibwa buli muntu n'okugasuubula.

Kigambibwa nti buli kiro y'amasanga g'enjovu eri ku wakati wa Doola 6,000 ne 7,000 mu ssente za  Uganda bwe bukadde 21.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’