TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Hajji agobaganya ab'e Nakaseke ku ttaka bamukunyizza

Hajji agobaganya ab'e Nakaseke ku ttaka bamukunyizza

By Benjamin Ssebaggala

Added 18th August 2017

HAJJI Swaib Yiga Mukasa azze agoba abantu ku ttaka e Nakaseke ne yeekomya yiika z’ettaka ezisoba mu 1,000 yatuuyanye ng’akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamutadde ku nninga annyonnyole engeri gye yalifunamu.

Swaib1 703x422

Hajji Swaibu ng'annyonnyola akakiiko k'ebyettaka. EKIF BENJAMIN SSEBAGGALA

Basoose kumuwa mukisa ategeeze akakiiko ky’ayagala kakole n’akasaba okubeera akaamazima n’obwenkanya, kawulirirze bulungi n’obwegendereza bye yabadde agenda okunnyonnyola nti kajja kufuna amazima gakayambe ne Uganda okutwalira awamu.

Abatuuze ku byalo ebyenjawulo okuli Senda, Balatira, Naluvule, Mizimbo, Nkozi, Kyetume, Manywa n’abalala beekubira enduulu mu kakiiko kabataase ku Hajji Swaib Yiga abagobaganya okuva ku bibanja byabawe nga tabawadde mukisa kwegula wadde okubaliyirira mu ngeri ematiza.

Yiga yawerekeddwako munnamateekawe Stanley Kawalya owa KNN Advocates.

Bwe yagasimbaganye n’akakiiko akakulirwa Omulamuzi Catherine Bamugemereire, baamutadde ku nninga annyonnyole ekimutulugunyisa abantu.

Omulamuzi yamulagidde annyonnyole ku by’omwana Steven Mukumbya 15, eyazze mu kakiiko n’amulumiriza okumutulugunya n’atuuka okukwata magalo n’amunyiga obusajja ng’amulumiriza okumubba.

 ajji adru nga bamutwala ku oliisi e andegeyaokukola sitetimenti Hajji Badru nga bamutwala ku Poliisi e Wandegeyaokukola sitetimenti

Yiga yabyegaanye Omulamuzi kwekumubuuza lwaki yagaana okugenda ku poliisi okukola sitetimenti.

Yategeezezza nti yabadde yeekubidde enduulu ewa Ssabawaabi wa gavumenti era fayiro yabadde yagiyise bagireete e Kampala okuva e Nakaseke.

Yawaddeyo ebbaluwa okukakasa kino ng’eva mu bannamateeka ba Rwabogo & Co. Advocates eraga nti omusango guli ku fayiro CRB 660/2017 kyokka munnamateeka w’akakiiko Ebert Byenkya yagenze okugisoma ng’eraga kwemulugunya kwa Swaib nti omusango ogumuvunaanibwa gw angassi kyokka tafunye bwenkanya.

Omulamuzi yakangudde ku ddoboozi n’amulagira agende ku poliisi e Nakaseke omwana gye yawaaba omusango akole sitetimenti.

Yiga yayanukudde nti yabadde yagenze e Kamwokya n’akola sitetimenti ku nsonga eyo wabula akakiiko bwe kaabadde kaabuka, Omulamuzi n’alagira abaserikale bamukwate bamutwale gye yabadde agamba nti gye yakoledde sitetimenti kubanga yabadde atumyeyo abantu ne bamutegeeza nti teyagigoze, bwe bakizuula nga teriiyo bamuggalire ku poliisi e Wandegeya.

Swaib yakubye essimu emirundi egy’enjawulo naye ng’alabika yonna tafunayo buyambi bwe yabadde anoonya.

 ajji adru nga bamutwala ku oliisi e andegeyaokukola sitetimenti Hajji Badru nga bamutwala ku Poliisi e Wandegeyaokukola sitetimenti

 

Yagezezzaako okugiwa abaserikale boogere n’omuntu eyabaddeko ne bigaana.

Omulamuzi yagambye nti yabadde talaba kiti kituufu mw’ayinza okussa Swaib olwengeri gy’atulugunyizzaamu abato n’abakulu okusinziira ku bujulizi obuzze mu kakiiko.

Yamubuuzizza nti awo weyabadde atudde mu kakiiko singa bamuyimiriza ne wabeerawo omuntu amunyiga obusajja ye awulira atya.

Swaib yagambye nti ye muntu alumirirwa abalala era yatwala enkulaakulana ku kitundu. Omulamuzi yamubuuzizza obwa waliwo eyamusaba okugendayo n’asirika.

Yamugambye nti engeri gy’alumirirwa abantu amusomere ekiwandiiko kye yamuwadde, yabadde ndagaano gye yakola n’omukya Grace Nambooze ng’alaga nti emmere ye eyali mu nnimiro yali amuliyiridde 50,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...

Gnda 220x290

Omukyala kaalaala alumya omutima...

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala...