TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri abaana ba minisita gye babayingizza mu by’okutta omuntu

Engeri abaana ba minisita gye babayingizza mu by’okutta omuntu

By Joseph Mutebi

Added 18th August 2017

POLIISI ezuzumba n’omusango batabani ba minisita mwe balumirizibwa okutta munnaabwe. Era kizuuse nti omusango gwazzibwa beeyambisa mmotoka ya kitaabwe.

Musa 703x422

Omugenzi Muhiire n’omu ku booluganda lwe mu biseera byabwe eby’eddembe.

Abavunaanibwa be batabani ba minisita Peter Lokeris, ow’eggwanga avunaanyizibwa ku byobugagga eby’omu ttaka, era ng’omusango guno ogwazzibwa ku nkomerero ya May gubaddemu okukukuta kwa maanyi okutuusa ensonga lwe zaavuddeyo ku nkomerero ya wiiki ewedde.

BYAZZE BITYA?

Ensonga okutuuka okuvaayo kyaddiridde famire y’omuvubuka Stephen Muhiire Bamuturaki 42, abadde akulira enzirukanya y’emirimu mu kkampuni ya Smile Telecom, agambibwa okuttibwa, okuva mu mbeera nga beewuunya engeri poliisi gye yayimbudde Peter Aimat, Felix Apo Oroma, (batabani ba minisita), Ignatius Bagyenzi eyeeyita Gift, Christine Luzindana Kyakwera ne Mary Kavuma nga tebalinnye mu kkooti so nga bavunaanibwa gwa butemu.

Muhiire yafudde nga May 20, bwe yabadde ava mu bbaala ne mikwano gye abawala babiri Mary Kavuma amanyiddwa nga Maria ne Christine Luzindana Kyakwera n’omulenzi Ignatius Mugyenzi eyeeyita Gift.

Bano bwe baakwatiddwa ne balonkooma batabani ba minisita, Aimat ne Apo Oroma nnannyini kkampuni ya Walt Machine Engineering, esangibwa e Mukono ku luguudo lw’e Kayunga nti nabo balina kye bamanyi wabula ne bayimbulwa oluvannyuma lw’ennaku ssatu.

 elix po roma naye bamulumiriza mu ttemu lino Felix Apo Oroma naye bamulumiriza mu ttemu lino.

Irene ne Maria, baalimbalimba Muhiire nti bamutwala ku kabaga kyokka ne batamugamba kifo gye kaali era baakozesa mmotoka ya Irene, Toyota Spacio UBA 512E oluvannyuma lw’emmotoka ya Muhiire Toyota Vista UAM 626U okufa n’etwalibwa mu galagi e Bweyogerere na kati gy’ekyali.

Akaba ga tekaaliyo Bwe baamuggya ewuwe mu Naalya Estates, baasibira mu bbaala ya Sky Lounge ku Kisementi mu maaso ga Acacia Mall gye baali bamulimbye nti we waali akabaga wabula akulira abakozi mu kifo kino Liz Nuwe yategeezezza nti ku Lwokutaano nga May 19, tebaalina muntu yenna yalinawo kabaga ate ne ku May 20, ku Lwomukaaga, akabaga akaaliwo kaali ka Muyindi.

Okusinziira ku mukozi mu bbaala eno, Stephen Nuwagaba, Muhiire yali n’abawala babiri era baanywa.

Bwe zaali zinaatera okuwera essaawa nga 7:00 ez’ekiro, ne bava mu bbaala ne bagenda.

N’omukozi omulala gw’oyinza okuyita kagusunda ku bbaala eno yategeezezza poliisi mu sitetimenti nti Muhiire yamulabako n’abawala ku bbaala wabula teyamanya ngeri gye baavaawo.

Nuwe yategeezezza nti, Muhiire abadde kasitoma waabwe wa lulango era nga kyangu okumwawula ku bantu abalala n’agamba nti ye takola kiro wabula poliisi bwe yagenze ku bbaala okubaako by’ebuuliriza, abakozi baakakasizza nti baali bamulabyeko ku Lwokutaano akawungeezi n’abawala.

Bwe baali mu bbaala, abawala baalabibwako nga bakuba amasimu ag’okumukumu wabula kyali kizibu okumanya bye baali boogera ne be boogera nabo era nga kiteeberezebwa nti baali boogera n’abaatemula Muhiire.

 motoka ya uhiire Mmotoka ya Muhiire.

Nuwagaba agattako nti, Muhiire ng’ali n’abawala, waliwo abasajja abajja oluvannyuma ne babeegattako nga wayise akaseera era olwamala ne babalekawo (Muhiire n’abawala) bbo abasajja ne bagenda.

Yagasseeko nti, oluvannyuma Muhiire n’abawala Nuwagaba b’agamba nti yali atera okugenda nabo ku bbaala eyo, baasituka ne basimbula wakati w’essaawa 7:00 ne 8:00 ez’ekiro.

Engeri Muhiire gye ya fudde Bwe baava ku Sky Lounge, baagenda ku Club Play mu Industrial Area oluvannyuma gye baava badde eka.

Felix Apo Oroma bwe yatuukiriddwa ku ssimu yategeezezza nti, baasanga abawala be bamanyi n’omulenzi mu bbaala ne batandika okunywa bonna n’oluvannyuma ne bakyusa ebbaala bonna okugenda mu ndala.

Wabula ebigambo bya Oroma byawukana n’omukozi mu bbaala ya Sky Lounge Stephen Nuwagaba, abasajja abeegatta ku Muhiire n’abawala, tebaalwawo baamala akaseera katono ne baleka Muhiire n’abawala ekimu ku bituli mu sitetimenti zaabwe bonna.

 rene uzindana omu ku baali nomugenzi Irene Luzindana omu ku baali n’omugenzi.

 

Okusinziira ku Oroma, bwe baatuuka mu Club Play, waayita akaseera katono abawala ne babagamba nti baagala kudda waka era ku ssaawa 10:00 ez’ekiro ne babawerekera ku mmotoka yaabwe ne bagenda ne Muhiire.

Yagaseeko nti, ku ssaawa nga 11:00 nabo baasalawo okuva mu bbaala badde awaka.

Ekimu ku bye twazudde, batabani ba minisita basula Bugoloobi naye emmotoka baagivuga badda Ntinda gye bagamba nti gye baasanga Muhiire n’abawala nga bagudde ku kabenje.

Okusinziira ku sitetimenti ze baakola ku poliisi, abawala ne Muhiire baasimbula ku ssaawa 10:00 ate bbo ne basimbula ku ssaawa 11:00 ne babasanga nga bagudde ku kabenje!!

Kino, kyongedde ebibuuzo mu mitima gy’aba famire ya Muhiire naddala kitaawe Bamuturaki.

Okusinziira ku musajja omuvuzi wa bodaboda eyali okumpi n’akabenje we kaagwa mu bitundu by’e Ntinda, yawulira ekintu ekyeggunda wabula bwe yasembera okulaba, yalengera abawala nga bayimiridde mu maaso g’emmotoka, omuntu gwe baali beebasizza wakati mu luguudo, n’emmotoka eyaliko ennamba emmyuufu.

Bataba ni ba minisita baa li mu mmotoka ya kitaab we Omusajja eyalaba ayongerako nti yalaba abasajja nga basitula omuntu eyali yeebase mu luguudo nga bamuteeka mu mmotoka eyaliko ennamba emmyufu ekika kya Land Cruiser ne bamutwala mu ddwaaliro e Ntinda eriyitibwa Kampala Independent Hospital eno gye baamuggya okumutwala e Nakasero.

Vitu mwannyina wa Muhiire alumiriza nti, emmotoka eno eyaliko ennamba emmyuufu, ye mmotoka ya kitaabwe era yakwatibwa n’etwalibwa ku poliisi ya Kira Road oluvannyuma kitaabwe gye yagiggya nga tayagala ebeere mu misango.

Ebbaluwa y’omusawo by’eyogera Okusinziira ku Julia Vitu Bamuturaki mwannyina wa Muhiire, omusawo w’e Nakasero, eyakebera omulambo gwa mwannyina yalaga nti yali awanguseemu amannyo abiri ng’alinga ge baasiseemu obusisi.

Yagasseeko nti era yalina ekiwundu ekinene wansi w’obulago ng’alinga gwe baasaze n’ekiso ng’amenyese embiriizi ku njuyi zombi nga n’amagulu gamenyese.

“Twatuuka mu kifo we baatugamba nti we waagwa akabenje naye twasigala tetumatidde okusinziira ku bye twalaba kubanga twasangawo buyinjayinja obumenyese, ate n’emmotoka yayonoonekako katono nnyo ku bbampa n’ettaala erya kkono,” Boniface Bamuturaki, kitaawe wa Muhiire bwe yagambye.

Abafamire si bamativu Famire ya Boniface Bamuturaki kitaawe wa Muhiire si bamativu n’engeri omuntu waabwe gye yafaamu era balumiriza nti, Ignatius Bagyenzi ‘Gift’ ng’ayambibwako batabani ba minisita, bamanyi engeri gye yafaamu.

Bamuturaki yategeezezza nti, afiiriddwa abantu bangi naye tewali yali amutuusizza mu mbeera gy’alimu kati kuba ye mutabani we omuberyeberye.

Yagasseeko nti, Gift bamulinako oluganda olutonotono era Muhiire bwe yamutegeera nti amulinako oluganda, yatandika okumwekenneenya wabula n’alaba embeera ze nga si nnungi n’atandika okumwewala.

Yagasseeko nti, emyezi mukaaga egiyise, babadde tebakyayogeaganya ku ssimu era yeewuunya engeri gye yatuuse okubeerawo mu kaseera we yafiiridde.

Mwannyina wa Muhiire ataayagadde kumwatuukiriza mannya yagambye nti, ekiseera nga bamaze okupanga olukwe lwonna nga ne mwannyina bamaze okumukola kye baamukoze, Gift ye yapanze buli kimu n’asasula n’emmotoka eyasiseewo mmotoka y’omuwala ne gye baagikwese mu bakanaabe era ye yasasudde n’abulawo n’essimu za Muhiire na buli kimu kye yabadde nakyo.

Oluvannyuma nga Muhiire amaze n’okutuusibwa mu Nakasero Hospital, Gift n’alyoka abakubira essimu ng’abategeeza nti afunye akabenje!

Minisita Lokeris ayogedde Kitaabwe Lokeris bwe yatuukiriddwa yagambye nti batabani be babasibako musango n’agamba nti eno y’ensonga lwaki abantu tebakyayagala kudduukirira bagudde ku kabenje.

 bbaala ya ky ounge ku isementi e ololo olutalo we lwatandikidde Ebbaala ya Sky Lounge ku Kisementi e Kololo olutalo we lwatandikidde.

 

Abawala tebakola bali ba kKaasi Julia Vitu mwannyina w’omugenzi yagambye nti, Maria ne Irene tebalina kye bakola wabula omulimu gwabwe omukulu kumanya basajja balinamu ku ssente kwe beetunga.

Yagambye nti, Irene Kyakwera Luzindana, muganda wa mukyala wa minisita David Bahati era baaluganda ne Gift era bwe baali ekiro ekyo.

Yagambye nti, baalimbalimba mwannyina nti bamutwala ku kabaga ne batamubuulira gye kali, yakomekkerera ali mu bbaala. “Abawala basula Kiwaatule balinga bataano mu nnyumba emu bbo baliwo kulya kaasi.” Julia Vitu bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, Gift gwe basinga okusongamu olunwe kubanga yabakinaggukirako nti ye akola ddiiru ze n’afuna ssente ezimubeezaawo.

Yagambye nti, mu sitetimenti ya Gift yatamattama; yasooka kugamba nti akabenje kaagwawo ssaawa 8:00 ez’ekiro n’amala n’agamba nti ssaawa 11:00, ekituufu ne kibabula.

Yagasseeko nti, yalina essimu z’aba famire naye akabenje ke balumiriza nti Muhiire mwe yafiira bwe kaamala okugwawo, Gift ye yakola buli kimu okulongoosa n’okukweka emmotoka y’omawala Irene gye baalimu ekiro ekyo ate n’abulawo n’ebintu bya Muhiire omuli amasimu.

“Yatukubira nkeera nga buli kimu kyawedde dda. Ekyo kisoboka kitya ku muntu gw’atalinaako buvunaanyizibwa!” Tulinda lipooti z’abakugu - Poliisi Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Emilian Kayima yagambye nti okunoonyereza ku musango guno, baakuteekamu abakugu okuva mu yunivasite e Makerere ne minisitule y’ebyenguudo.

Yagambye nti, baakola okunoonyereza kwabwe okwenjawulo era bagenda kukola lipooti ze bagenda okuwa poliisi zigiyambeko mu kusalawo ekiddako.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Asan Kasingye yagambye nti, poliisi terina mateeka gonna gakugira bantu kucakala nga bwe baagala wabula nti waliwo ebintu n’obukodyo bw’ebyokwerinda bwe basobola okukozesa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Furycut 220x290

Kitaawe wa Tyson Fury ayomba

TAATA w'omukubi w'ebikonde, Tyson Fury alidde obuwuka olwa mutabani we okumukuba ne bamuleka ng'atiiriika musaayi....

6989167024290732638466058559729169338990592o 220x290

Mbarara City etuuyanyizza Vipers...

SIZONI ewedde, Vipers yagitandika na maanyi. Yawangula emipiira ena egyasooka, n’etiisa bwe baali bavuganya nti...

Ekidyeri1webuse222 220x290

Ekidyeri ky’e Kamuli – Kayunga...

Abatuuze b'e Busoga babuukira waggulu olw'ekidyeri ky'e Kamuli-Kayunga okuddamu okukola

Kamo1 220x290

Kamoga anyiikiridde omulanga gwa...

Muhammadi Kamoga awunya mata.mukyala we Zanei Birungi amuzaalidde ssukaali

Ekyotoekirikoawabibisibwanamandaenkunegasinakyokigonzaembeerayokufumbawebuse 220x290

Kozesa eby'okufumbisa eby'enjawulo...

Okukozesa ebikozesebwa mu kufumba eby'enjawulo awaka kikutaasa okusaasaanya ekisusse n'osobola okwekulaakulanay...