TOP

Bamuttidde mu ntiisa ku Northern Bypass

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2017

ABAZIGU bataayizza omutuuze w’e Kyebando mu Kisalosalo ku luguudo lwa Northern Bypass ne bamunyaga oluvannyuma ne bamutema ebiso.

Make 703x422

Omio eyattiddwa

Bya MOSES LEMISA, GERALD KIKULWE ne MOREEN NABWEETEME

Entiisa eno yagudde mu Camuka Zooni e Kyebando nga Innocent Omio 26, akola mu kkampuni ya Alert Security Greoup gwe basse omulambo gwe ne gusuulibwa okumpi n’enkulungo y’e Kyebando.

Omulambo gwalabiddwa abantu abaakedde okugenda ku okukola ne bayita poliisi ye Kamwokya eyagututte mu ggwanika e Mulago.

Omulambo gwasangiddwa n’ebiwundu eby’amaanyi ku mutwe nga n’amannyo gawanguddwaamu.

Ensawo z’empale nazo zaasangiddwa nga zifunguddwa ng’empale emwambuddwaamu okutuuka mu magulu.

Julius Thokeruhga mukwano gw’omugenzi yategeezezza nti yakomye okulaba Omio ku Lwokuna emisana ne banyumyamu oluvannyuma ne baawukana.

Ramanthan Mukiibi akulira ebyokwerinda mu kitundu yategeezezza nti obumenyi bw’amateeka bungi mu zooni yaabwe naye babadde tebatta nga bakuba bukubi ne banyagulula abantu.

Yasabye poliisi eyongere amaanyi ku luguudo luno.

Kino we kijjidde nga n’omuduumizi wa Poliisi, Gen Kale Kayihura yaakatongoza enkola ya ‘Mayumba Kkumi’ n’asuubiza nti eno yaakuyamba nnyo okukendeeza ku ttemu mu bitundu.

Wabula mu kiro kye kimu ekyakeesezza Olwokuna, abatemu baasobezza ku mutuuze w’e Bwaise mu St. Francis Zooni, Namuwonge omulambo gwe ne bagusuula mu lukuubo lw’ennyumba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam