TOP

Asimattuse okuttibwa omuzigu e Nkumba

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2017

ROSE Nakayiza ow’e Nkumba -Kavundira alula. Awonye okuttibwa omusajja gwe yasanze n’akambe ku ssaawa 8:00 ez’emisana.

Pamba 703x422

Nakayiza eyasimattuse okuttibwa omuzigu

ROSE Nakayiza ow’e Nkumba -Kavundira alula. Awonye okuttibwa omusajja gwe yasanze n’akambe ku ssaawa 8:00 ez’emisana.

‘‘Omusajja ono eyabadde ayambadde woovulo nga yasiba n’enviiri z’abaraasi yeefudde ankwana kyokka nga mwegobako n’alemerako.

Nagenze okulaba ng’aggyayo akambe n’akatambaala kwe kudduka nga bwe nkuba enduulu era emmotoka y’emigaati eyabadde eva mu maaso ye yantaasizza kubanga olwagirabye ne yeefubitika ensiko’’.

Abatuuze baakuηηaanye nga beegattiddwaako poliisi baasambye ensiko nga banoonya omuvubuka ono kyokka n’ababula.

Akulira Poliisi y’e Mpala, Joseph Ssekitooleko yatuuse mu kifo kino n’alagira abatuuze okusaawa ensiko ekifo kyonna kitereere.

Nakayiza okusimattuka abatemu kiggyidde mu kiseera ng’abawala musanvu be baakattibwa mu kitundu ky’e Nkumba n’e Ntebe mu bbanga lya myezi ebiri.

Bonna basooka kubasobyako n’oluvannyuma ne babatuga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...