TOP

Kayihura akoze enkyukakyuka endala mu Poliisi

By Eria Luyimbazi

Added 21st August 2017

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Gen Kale Kayihura akoze enkyukakyuka endala mu basirikale ab'amadaala agawaggulu bw'abaggye mu ofiisi ze babaddemu n'abatuma mu ofiisi endala.

Genkayihura2 703x422

Gen. Kale Kayihura

Mu nkyukakyuka zino, Gen Kayihura alonze AIGP Abaasi Byakagaba okukulira ekitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa kukutendeka abasirikale (Human Resource Development)  nga kino kyalimu omugenzi Andrew Felix Kaweesi abazigu b'emmundu gwe batta nga March 17 2017 e Kulambiro nga yaakava awaka.

Byakagaba y'abadde akulira ettendekero lya  Police Senior Commander and Staff College e Bwebajja.

Abalala abakyusiddwa kuliko; AIGP Haruna Isabirye  ng’ono alondeddwa okukulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku mbeera z’abapoliisi  ( Welfare ) ekibaddemu Elizabeth Muwanga eyawumudde emirimu gya poliisi mu mwezi gwa June.

AIGP Isabirye y'abadde akulira ekitongole kya poliisi ekirwanyisa obubbi bw’ente ekya Anti Stock Theft Unit ( ASTU) era nga yakulirako ebikwekweeto mu poliisi wamu n’okuba omuduumuzi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano.

AIGP Andrew Sorowen abadde avunaanyizibwa ku guno na guli mu poliisi alondeddwa okuba omukwanaganya w’ebyemizannyo  ne Minisitule y’ebyenjigiriza, akakiiko k’ebyemizannyo mu ggwanga  ( National Council of Sports)   n’ebibiina by’emizannyo 53.

CP Moses Kafeero eyamalirizza okutendekebwa mu ggwanga ly'e Rwanda alondeddwa  okukulira ettendekero ly’abasirikale ab'amadaala aga waggulu erisangibwa e Bwebajja, CP Fenny Kyomukama aggyiddwa mu kitongole kya poliisi ekikkakkanya obujagalalo n'atwalibwa okukulira ekitongole ekirwanyisa obubbi bw’ente  ate  SSP Emmanuel Mukama abadde yaakava ku mirimu emitongole mu  AMISOM  e Somalia atwaliddwa okukolera mu kitongole kya poliisi ekikuuma abakungu ekya VIPPU.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam