TOP

Abaserikale ababbye emmundu ku CPS babakutte

By Eria Luyimbazi

Added 22nd August 2017

ABASERIKALE ba poliisi musanvu ab’oku Central Police Station (CPS) mu Kampala n’abalala bana abakolera e Iganga baakwatiddwa ku by’oku etterekero ly’emmundu ne babba emmundu bbiri n’amasasi 60.

Move 703x422

Poliisi ya CPS nga bwefaanana

Abaserikale abaakwatiddwa kuliko babiri abaabadde bakuuma poliisi ya CPS mu kiseera emmundu z’ekika kya AK 47 we zabbiddwa ate abana baakwatiddwa okuva e Iganga ng’emmundu ezabbiddwa gye zaasangiddwa.

Obulumbaganyi buno bwabaddewo mu kiro ekyakeesezza Ssande .

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura yagambye nti emmundu n’amasasi ebyabbiddwa byazuuliddwa e Iganga era bataddewo akakiiko akakulirwa omumyuuka we Okoth Ochola okunoonya n’okuzuula engeri abazigu bano gye baayingidde poliisi batuuke n’okubba emmundu n’amasasi.

“Akakiiko akassidwaawo twagala kazuule ekigendererwa ky’obubbi buno n’okuzuula abalala abaabadde mu lukwe lw’okunyaga emmundu n’amasasi,” Kayihura bwe yagambye. Kayihura yagambye nti wabaddewo obugayaavu mu baserikale n’alabula nti anaakwatibwa ng’alagajjalidde omulimu gwe ajja kuvunaanibwa.

Guno si gwe mulundi ogusoose abazigu okuyingiriraebitongole ebikuumaddembe.

Mu 2013, abazigu baamenya etterekero ly’emmundu ery’ekkomera lya Kamuge mu disitulikiti y’e Palisa ne badduka n’emmundu z’ekika kya Submachine bbiri n’amasasi 54.

Abaserikale b’amakomera babiri be baakwatibwa okuyambako mu kunoonyereza.

Ate mu 2012 emmundu 11 zabbibwa okuva ku bakuumaddembe.

Mu mwaka gwe gumu, poliisi yazuula emmundu 49 ezaali zibbiddwqa okusinziira ku lipoota y’ebyokwerinda eyafuluma mu 2012.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...