TOP

Ogwa Sheikh Mwanje gwongezeddwayo

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd August 2017

OMULAMUZI wa kkooti enkulu Wilson Kwesiga alagidde oludda oluwaabi okuwa balooya wa Sheikh Yahya Mwanje obujulizi bwonna bwebagenda okwesigamako mu musango basobole okufuna obudde okutegeka engeri gyebanewoozako.

Mwanje1 703x422

Sheikh Yahya Mwanje ng'aliko by'ategeeza looya we Roberts Kagolo. Ku mabbali ye Muhammad Buyondo, omu ku bavunaanibwa mu musango gw'okutta Maj. Kiggundu, eyali bba wa Maama Fiina. EKIF: ALICE NAMUTEBI

BYA ALICE NAMUTEBI

Kino kiddiridde omuwaabi wa gavumenti John Baptist  Asiimwe  okusaba wiiki 3 asobole okutegeka engeri gyebagenda okuumamu abajulizi n’okuwaayo obujulizi eri balooya ba bawawaabirwa. 

Wabula omulamuzi Kwesiga agaanye okusaba kwe bw'agambye nti wiiki 3 z'asaba nnyingi nnyo nga n’okutegeka engeri gye bagenda okukuumamu abajulizi tekitwala wiiki. 

Alagidde nga September 7,2017 oludda oluwaabi okumaliriza emisoso gyonna kkooti esobole okutandika okuwulira omusango guno. 

Sheikh Yahya Mwanje avunaanibwa omusango gw’okutta Maj. Muhammad Kiggundu eyali bba wa maama Fina. 

Avunaanibwa n’aba boda boda 2 okuva ku siteegi ye Nsangi Muhammad Buyondo ne Abdu Wahab SSendegeya n’omusuubuzi  Musa Ssekandi. 

Kiggundu yattibwa n’omukuumi we Sgt. Steven Mukasa nga November 26, 2015 mu tawuni y'e Masanafu bwe baali bagenda ku leediyo emu okukola pulogulaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo