TOP

Brig. Kasirye Ggwanga akyawanda muliro

By Joseph Mutebi

Added 23rd August 2017

MUNNAMAGYE Brig. Kasirye Ggwanga akyawanda muliro.

Ggwanga 703x422

Brig. Kasirye Ggwanga

MUNNAMAGYE Brig. Kasirye Ggwanga akyawanda muliro.

Alabudde abatandise okutambuza ebigambo nti yapondoose n’agenda ku poliisi ya SIU e Kireka n’akola sitetimenti ku byokwokya tulakita n’okugikubamu amasasi nti ajja kubakolako era gw’anaakwasa ajja kumugwiira nga laddu.

“Nze ndi munnamagye ali ku ddaala erya waggulu. Sisobola kugenda ku poliisi ya bulijjo kunzigyako sitatimenti era bwemba wa kugikola erina kunzigyibwako ba miritale poliisi bokka abaamagye ate nabo teri yampise kuginzigyako,” Bwatyo Kasirye Ggwanga bwe yategeezezza.

Brig. Kasirye Ggwanga okwogera bino yabadde ayagala kutegeeza ggwanga kituufu ku kigenda mu maaso ku by’okwokya tulakita ng’amawulire gatandise okusaasaana nti yagenze ku poliisi e Kireka ku SIU n’akola sitatimenti.

Kasirye yagambye nti abantu kye bayita okugenda ku poliisi okukola sitatimenti, y’essimu Pulezidenti Museveni gye yamukubidde amunnyonnyole ku biki ebyaliwo n’atuuka n’okwokya tulakita eno era n’amubuulira buli kimu wabula Pulezidenti n’amulagira by’amunnyonnyodde abeeko abamu ku baserikale ba poliisi b’aba abibuuliramu.

“Era abapoliisi bazze ewange abamu ne mbagoba ne nsigazaako babiri bokka be nnabuulidde ebyaliwo. Nzikiriza nti nze nayokya tulakita eno ne ngikubamu n’amasasi wabula nga tunyumyamu bunyumya teri kuwandiika era oluvannyuma ne mbasaba nti okuddamu okubaako kye baagala okumbuuza bamale kuleeta eyali nnannyini tulakita eno eyasaalimbira mu ttaka lyange.

Kati oyo agamba nti nagenze e Kireka ne nkola sitatimenti aleete we natadde omukono ku sitatimenti okukakasa bye nayogedde oba ku kakalu ka poliisi ke bampadde we natadde omukono.

Nze ndi musajja mmekete ne Pulezidenti gwe nsinga okuwa ekitiibwa akimanyi kubanga Abatanzania bwe bansiba mu 1979 ennaku 897 e Tanga ku liyanja lya Buyindi (Indian Ocean), saafaayo era nadda ne nkuba Obote ebyasi ebyamuggya mu Ntebe. Museveni namwegattirako Masaka,” Bwatyo Kasirye bwe yakkaatirizza.

Kasirye yabuuzizza oba tulakita gye yayokya yagisanga mu kkubo oba mu ttaka lye?!.

Yayongeddeko nti waliwo ekibinja ky’Abalangira abakyamu okuva e Mmengo abaagala okuwamba ettaka essava e Lubowa era kati beeyingizza ne mu lya mukyala we kyokka n’alayira okubafiirako.

Yagambye nti ne bwe banaamutwala mu kkooti tagenda kugula balooya kuba entegeera ye agamba nti eri waggulu nnyo teyeetaaga amuwooleza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...

2 220x290

Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu...

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu...