TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akabenje ka takisi katuze omuyizi e Kayunga: Abalala 10 bapooca

Akabenje ka takisi katuze omuyizi e Kayunga: Abalala 10 bapooca

By Saul Wokulira

Added 23rd August 2017

TAKISI egudde n'etta omwana n'okulumya abasaabaze abalala 10 abagibaddemu.

20170817163721 703x422

Takisi eyakoze ababenje

Akabenje kano kagudde Gayaza ku luguudo oluva e Kayunga okudda e Bbaale.

Takisi nnamba UAW 559N y'egudde ne yeefuula.

Omwana afudde ye Kasimu Owundo abadde ava ku ssomero.

Abalala abalumiziddwa kuli Peter Ssempala, Ronald Kayemba, Aminah Nabirye n'abalala.

Abalabye akabenje nga kagwawo baategeezezza nti takisi yabadde ewenyuka buweewo n'esangayo loole y'ebikajjo , kyokka ddereeva bwe yagezezzaako okugyebalama obutatomeragana n'atomera ow'akagaali mmotoka ne yeefuula.

Akulira poliisi y'ebidduka e Kayunga Celina Anyago agambye nti akabenje kavudde ku ddereeva wa takisi kuvugisa kimama.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda

Hot1 220x290

Minisita amazzi gatutabukidde

Minisita amazzi gatutabukidde

Lit1 220x290

Omukazi atulugunya abaana bange...

Omukazi atulugunya abaana bange

Tap15 220x290

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi...

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi okuvuga eggaali

Det23 220x290

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus...

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus