TOP

Yaaya eyatulugunya omwana bamutadde tannatuusa

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2017

OMUKOZI w’awaka eyatulugunya omwana wa mukama we ayimbuddwa ng’emyaka gye baamusalira tegiweddeeyo.

Tunda1 703x422

Kamanzi nga bw’afaanana kati. Ku ddyo ye Jolly Tumuhirwe eyayimbuddwa

Bya PETRIDE MUDOOLA NE JOSEPH MAKUMBI

Kkooti yamusalira kusibwa myaka ena, wabula yayimbuddwa nga mu kkomera amazeeyo emyaka esatu gyokka ekyanyiizizza abamu ku bazadde abaali baagala omuwala ono asibwe emyaka mingi afuuke eky’okuyiga eri abakozi abatulugunya abaana ba bakama baabwe.

Jolly Tumuhirwe 25, yayimbuddwa ku Lwokutaano ku makya okuva mu kkomera e Luzira.

Yabadde musanyufu nnyo era yasiibudde basibe banne era ne yeesogga emmotoka y’ekika kya Super Custom eyamukimye e Luzira ne yeggyawo.

Bwe yabadde agenda okuyimbulwa yaweereddwa amagezi okwewala akasunguyira n’okuzza emisango egiyinza okumuleetera okudda mu kkomera.

Omwogezi w’ekitongole ky’amakomera Frank Baine bwe yabuuziddwa lwaki Tumuhirwe ateereddwa ng’ebbanga lye terinnaba kuggwaako yategeezezza nti, ekibonerezo kye kyakendeezebwako olw’empisa ennungi z’alaze ng’ali mu kkomera.

Mu December wa 2014, Tumuhirwe yakwatibwa ku katambi ng’asottasotta omwana wa mukama we, Eric Kamanzi e Kiwaatule mu Kampala.

Akatambi kaalaga Tumuhirwe ng’akaka omwana ebyokulya oluvannyuma n’asikambula omwana okuva mu ntebe n’amukuba ku ttaka, n’amusottasotta n’akwata ttooci n’atandika okugimukubisa nga kw’atadde n’okumusottera ku ttaka era omwana bye yali alidde byonna ne bikomawo.

Omwana Arnela Kamanzi gwe baaatulugunya mu ngeri ey’obutemu yali wa myaka ebiri mu kiseera ekyo wabula kati akuze awezezza emyaka 5 era yeeyagala bulungi, nga kati ali mu ssomero.

Omulamuzi Lillian Buchana ye yasalira Tumuhirwe ekibonerezo ky’okusibwa emyaka ena, kyokka era abantu bangi baakiraba ng’ekitono okusinziira ku kikolwa eky’ettima kye yali akoze.

Omuwala ono yayambibwa nnyo looya we Ladislaus Rwakafuzi eyamuwa amagezi akkirize omusango era n’asaba omulamuzi akendeeze ku kibonerezo.

Kamanzi bwe twamutuukiridde okwogera ku kuyimbulwa kwa Tumuhirwe yagambye nti, ekintu Tumuhirwe kye yakola kyabaluma nnyo ne bamukwasa amateeka.

Yagambye nti talina ky’asobola kwogera kubanga kiyinza okumujjukiza ennaku y’ebyaliwo byonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.