TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kirumira ayatulidde abalemesa ekiragiro kya Pulezidenti okumuzza mu Kampala

Kirumira ayatulidde abalemesa ekiragiro kya Pulezidenti okumuzza mu Kampala

By Deo Ganyana

Added 27th August 2017

AFANDE Mohamad Kirumira yavuddeyo n’alumiriza nti waliwo abantu abaalemesa pulezidenti Museveni ne mukama we Gen. Kayihura okumuzza mu kibuga akitereeze.

2103444818412341258943553775400438919082940n 703x422

‘Pulezidenti Museveni yampita era n’alagira nkomewo mu Kampala okutereeza embeera naye abantu abamaze ebbanga nga bannemesa era na kino baakiremesa’, Kirumira bwe yategeezezza.

Yagambye nti abantu bano bwe baawulira nti waliwo enteekateeka ez’okumuzza mu Kampala, ne batandika okuwandiikira mukama we Kayihura amabaluwa nga bamukolokota era ne bituuka ne ku pulezidenti Museveni, olwo buli kimu ne kigootaana.

Kirumira yasinzidde mu kivvulu kya Mathias Walukagga kye yatuumye Prison Break, ku Obligato okwogera bino, bwe yaweereddwa akazindaalo okujja ku siteegi abuuze ku bantu, olwo ne bamukubira emizira n’okumulaga obuwagizi.

Mu kiseera kino Kirumira DPC w’e Buyende gye yatwalibwa ng’aggyibwa ku Old Kampala ng’a DPC, era yategeezezza nti mumalirivu okuweerereza mu kitundu kyonna ekya Uganda era talina nteekateeka yonna yakuva mu poliisi ng’abamu bwe babyogera.

Kirumira ajjukirwa nnyo okulwanyisa ababbi mu bitundu by’e Nansana, mu Kisenyi, okulwanyisa obubinja bwa bbabi nga Kifeesi, B10, n’obulala ne mu bitundu nga Nakulabye ne Kasubi, yakolayo omulimu ogw’amaanyi era ebiseera we yabeerera mu bitundu ebyo abaayo baafuna ku mirembe.

EKIVVULU KYA WALUKAGGA BA NNABYABUFUZI BAAKIFUDE KADAALA

Wabula ekivvulu kino bannabyabufuzi baakifudde kadaala nga bakira buli aweebwa omukisa okwogera akolokota oludda lw’avuganya, nga mu bano mwe mwabadde minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’obulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi.

 

Ono bwe yakutte akazindaalo, yasoose kwebaza Walukagga okuyimba ennyimba ezizimba eggwanga wadde ng’ezimu zibaamu ebikoona gavumenti kyokka nti eyo ndowooza ye, yabadde akyayogera abantu ne baleekaanira waggulu nti ‘Temukwata ku Konsitityusoni’ Kiwanda yabaanukudde n’agamba nti Konsitityusoni yeetaaga okukwatamu kubanga pulezidenti Museveni akyalina embavu ate abantu bangi bakyamwagala olw’ebintu ebingi by’akoze akyalina okubaawo.

Kino kyawalirizza omubaka Allan Ssewannyana okusika akazindaalo ku minisita Kiwanda n’avumirira aba Muvumenti okwagala okukyusa Konsitityuusoni n’alabula nti singa kino kikolebwa, eggwanga lyandidda emabega bo kyebava bakiwakanya.

Walukagga yeebazizza abawagizi be n’abasuubiza nti buli kiseera ajja kubayiiyiza ebipya naddala ebyo byalowooza nti bizimba eggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.