TOP

Eyasse omwana we bamukutte

By Ponsiano Nsimbi

Added 27th August 2017

POLIISI y’e Kanyogoga – Namuwongo mu Munisipaali y’e Makindye ekutte omukazi agambibwa okutta omwana we ow’emyezi esatu omulambo n’agusuula mu kisaalu okuliraana n’omwala gw’e Nakivubo.

Philly 703x422

Nabakooza ( ali wakati) nga yakakwatibwa abatuuze.

Fiona Nabakooza 26, ow’e Najjanankumbi mu Stella Zooni abatuuze b’e Namuwongo ne poliisi baamukutte bwe yabadde agezaako okudduka oluvannyuma lw’okusuula omulambo gw’omwana we, Angel Nalubega mu kisaalu.

Isaac Oyat, omu ku baalabye Nabakooza ng’afubutuka mu kisaalu yategeezezza nti yalabye bodaboda ng’emuleeta n’emuteeka okumpi n’omwala n’asasula owa bodaboda eyamuleese n’asimbula n’amuleka awo.

Yagambye nti yamulebye nga yeefubitika ekisaalu ng’alina ebintu by’akutte kyokka yagenze okuvaayo nga talina kintu kyonna ekyamuleetedde okumwekengera n’atemya ku banne.

Oyat yagambye nti banne be yayise baatandise okumugoberera era bwe yategedde nti waliwo ekikyamu n’adduka nabo kwekumugoba ne bamukwata.

Baabadde baakamukwata poliisi n’etuuka n’aba bodaboda ne bategeeza nga munnaabwe bw’abagambye nti waliwo omukyala gw’aleese n’omwana nga yandiba ng’amusudde mu mwala.

Fred Mwesigwa ssentebe w’e kitundu kino, yagambye nti abatuuze nga bali ne poliisi baasobodde okuggyayo omulambo mu mwala gye gwabadde gusuuliddwa Nabakooza n’atwalibwa ku poliisi bakole okunoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...