TOP

Nnaalongo angabyeko abalongo ab’emyaka 25!

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2017

OMUGENZI Herman Basudde yayimba nti akyalina nnyina teweeyibaala kitaawo asobola okukyuka obudde bwonna nga nnyoko akugabye awalala.

Part1 703x422

Buyiire ne Nnaalongo Keziya eyamugabyeko abalongo.

BYA MUHAMMAD SSEBULIBA

Ssinga mukyala wo azaala abalongo n'obalabirira n'erinnya lya Ssaalongo ne likala mu Kika ne ku kyalo wabula we batuukira okukuleetera abazzukulu Nnaalongo n'akawaηηamula (kw’olwo n’erya Ssaalongo n’atalikozesa) nti, “Mwami, abalongo nnabazaala mu musajja mulala nsonyiwa, nagwa mu nsobi.”

Ye abaffe watya nga kitaawe w’abalongo omutuufu muli ku kyalo kimu, oddamu n'omubuuza? Ebibuuzo bino buli muntu abiddamu bubwe ng'abasajja abamu bagamba nti, “Twawukana n’omukazi, nkutukira ku musajja,” n'ebirala ebyoleka ennyiike n’obukambwe bwe kiyinza okubaleetera.

By’osoma si lugambo wabula kyatuuka ku Atanansi Buyiire 63, omutuuze ku kyalo Butende mu Ggombolola y'e ηηando mu disitulikiti y'e Butambala bwe yalabirira abalongo mukyala we be yazaala ate omukazi n’abagaba mu luggya olulala nga bakuze.

Buyiire attottola bwe yawulira nga bakamutemye: Essanyu lye nafuna ku lunaku mukyala wange Keziya lwe yankubirawo abalongo saagala kulijjukira naye sirifunangako mu bulamu bwange.

Wabula ate sifunanga ku kaseera kazibu nga ke nafuna mu kadde we bantegeereza nti abalongo Wasswa ne Nakato si bange era amangu ago ne batwalibwa mu kika kyabwe.

BUYIIRE GYE YAVA NE NNAALONGO

Buyiire agamba nti, “Buli mwaka kkampuni ya Vision Group lwetegeka ekivvulu ky'abalongo omutima gunnennyika olw'abalongo be nali ndowooza okuba abange ab’Ekika ky’Engabi okufuuka ab’Enjovu.

Mukyala wange nnamufuna mu 1976 mu ngeri ya kawundo kakubye eddirisa ng’akyali muto.

Namuleka mu kyalo ne ηηenda e Kampala okupakasa nsobole okugenda okweyanjula mu bakulu.

Ssaasosola mulimu era buli gwe nnalabanga omuva ssente nga ngukola, ensimbi olwawera ne tukkaanya ne munnange antwale mu bakulu ekintu kye twakola mu kitiibwa.

Mu Kampala nnabeezangayo mubiri ng’ebirowoozo biri mu kyalo eri munnange. Si lwakuba nalinamu okumwekengera naye omukwano gwe nalina gy’ali gwe gwambeezanga bwentyo.

Nakekkerezanga ssente olumu ne nsula enjala nga nduubirira lwe nzira mu kyalo ntwalire munnange ssente eziwera afuneko n'ezinaamuyamba okufuna abapakasi abanaamulimirako.

Buli mwezi nanyigirizanga ne ηηenda mu kyalo waakiri emirundi ena nga ntuukayo ku Lwakutaano ne nvaayo ku Ssande. Ssaakirowoozaako wadde okufuna okwekengera nti we ssiba munnange agaba ebyange.

NNAALONGO AZAALA ABALONGO

Mu March wa 1980 nnava ku kibuga ne nzira mu kyalo nga bwe nakolanga. Munnange yantegeeza bwe yali azitoye.

Ku nkomerero y’omwaka kyatuuka n'akubawo abalongo Wasswa ne Nakato essanyu ne lijula okunjabya, nga nze ani Buyiire waabwe afuna erya Ssaalongo eryegombwa ne babinojjo ne libalema!

Wasswa namwongerako erya Fred Sseguya ate Nakato ne mutuuma Peace Nalubega. Olw’ekkula lino munnange lye yantuusaako, omukwano gweyongera Nnaalongo wange buli kalungi ne nkamulowooleza n’abooluganda abamwogerako ebimunyiiza ne mbakyawa.

Sakkiriza baana bange kujula nga mbeegendereza wakati mu kubaagala nti tebalwa kunyiiga ne banjokya! Nagula empuuta n'abazitema ne bajula okunneetamwa ggwe ate Nnaalongo n'abalongo balya batya amaluma!

EBY’EKA BIBANJA

Mu 2005 ng’abalongo bawezezza emyaka 25, Nakato yalwala obulwadde obwatulema okutegeera, ng’olumbe lumugwira ne lumutuga.

Twakanda kuyenga ddagala lino na liri nga buteerere. Abamu baatutegeeza nti osanga abalongo twali tubasobezza kyokka kino ne nkiwakanya kuba ssaali mutambuze ate nga ne munnange Nnaalongo mwekakasa talabankana na basajja.

Twaweebwa amagezi omulongo tumutwaleko mu basawo ab’ekiddugavu era omulimu nagukwasa mwannyinaze (Ssenga w’abaana).

Mu budde obwo Kampala nali mmwabulidde nga nzize mu kyalo ntereere ne Nnaalongo tukuze abaana abagoberera abalongo kuba olwo bo baali bakuze nga n'abaana bazadde.

AMAWULIRE GANKUTULA ENKIZI

Lumu twali twakamaliriza okulya ekyemisana nga tugandaddeko ne Nnaalongo mu kasiikirize k’omuti mu luggya, mwannyinaze anzirako n'atuuka.

Yampita n’anziza ebbali n'antegeeza nga bwe yali afunye amawulire nti abalongo tebaali baffe kyokka n’ankugira okubitegeeza Nnaalongo ekyandeetera okulowooza nti osanga bukyayi bwa bakazi ku balamu baabwe. Olwankuba omugongo ne mbibuulira Nnaalongo wange.

Okwalibadde okuddamu yatulika kukaaba nga bw’afukamira wansi n'okunneetondera nti, “mwami nsonyiwa nasobya naye ekituufu abaana si ba mu maka gano era nkusaba onsonyiwe!” Nalabanga abantu abazirika olw'ekigambo ekibagambiddwa nga nkayita kajanja naye kw’olwo nakikkiriza nti biba bituufu kuba akaseera ke nayitamu saagala kuddamu kuntuukako. Amalusu gannema okumira ekitengo ne kinzijira n'empale kata entobeko.

Nalaba ng’ali mu kirooto kyokka oluvannyuma lw’eddakiika nga ziizo nnabuuza Nnaalongo nannyini baana omutuufu n'anziramu ng’akotese omutwe nti, ‘Bulayimu’.

Bulayimu eyambuulirwa yali mukwano gwange gwe ntera n'okweyazikako ebbomba epika mu ggaali omukka nga ye yasomola oluwombo lwange! Ho, natya abantu! Kyokka okuva olwo omulongo Nakato taddangamu kulwala.

NAMUSONYIWA

Nnaalongo namuleka era sirina kye namukola ne tutambuza obulamu obulala na kati tuli ffembi mu ddya kyokka namala ebbanga nga ngugumuka.

Nateebereza okuwalana musajja munnange nga nakyo tekirina makulu era n'abaana ewange bajja n'emirimu bankolerako.

Mpozzi ekyannuma nnali ndowooza nti munnange eyafunira abaana ku mukeeka anaabaako ky’ampaayo wadde nali saagala!

Ekirala, erinnya lya Ssaalongo lyansigalako kyokka bwe balimpita mpulira amaggwa nga ganfumita mu mutima,” Buyiire bw’amaliriza.

ENSONYI ERI MUSAJJA MUNNANGE TEZINZIGWANGAKO - SSAALONGO SSEMMAMBO

Omusasi bwe yatuukiridde Ssaalongo Bulayimu Ssemmambo kazaala balongo omutuufu mu bigambo ebitono ddala yagambye nti:

“Nange ekizibu kino kyangwako bugwi, tekyali kigendererwa kyange. Naye nga bwe bagamba nti, okalya dda kadda dda, n’akange kadda katyo. Kyammenya kuba kyakendeeza enkolagana gye nalina ne Buyiire naye kale ennaku y'ekisajja bwetyo.

Tukwatagana ne Buyiire naye nze n’okutuusa kati ensonyi z'obuntu tezinzigwangamu,” Ssemmambo bwe yagambye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...