TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akeediimo k’abalamuzi kayingidde wiiki eyookubiri

Akeediimo k’abalamuzi kayingidde wiiki eyookubiri

By Ahmed Mukiibi

Added 28th August 2017

AKEEDIIMO k’Abalamuzi n’abakozi abalala ab’ekitongole ekiramuzi kayingidde wiiki eyookubiri okuva lwe kaatandise ku Lwokutaano, abalamuzi bwe baagaanyi okulinnya mu kkooti okuwulira n’okusala emisango nga beemulugunya ku nsasula embi.

Pamba 703x422

Godfrey Kaweesa, pulezidenti wa Uganda Judicial Officers Association (UJOA) ng'asisinkanye aba Public Service okuteesa mu misaala gy'abalamuzi

Abalamuzi n’abakozi b’ekitongole ekiramuzi abasoba mu 400 baatandise akeediimo ku Lwokutaano oluvannyuma lwa nsalesale ow’ennaku 30 gwe baawa Gavumenti okubongeza omusaala n’ensako okuggwaako ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde.

Nsalesale abalamuzi n’abakozi b’ekitongole ekiramuzi ekya Uganda Judicial Officers Association (UJOA) gwe baawa yatandise July 24, 2017 nga yaweddeko August 23, 2017 nga tewali kikoleddwaawo ku bye baasaba Gavumenti okukola.

UJOA ky’ekibiina omwegattira abalamuzi okuviira ddala mu ba kkooti ey’oku ntikko okutuuka ku balamuzi ab’eddaala erisooka n’abakozi ba kkooti abalala.

Baasalawo nti ky’ekiseera nabo Gavumenti okutunula mu nsasula yaabwe kubanga mbi nnyo era eswaza.

Abalamuzi okwediima kuddiridde abawaabi b’emisango gya Gavumenti okussa wansi ebikola okumala wiiki nnamba okuva nga July 10 okutuuka July 17,2017 okutuusa Gavumenti lwe yakkiriza okulinnyisa emisaala gyabwe ng’abadde asembayo okufuna omusaala omutono ogwa 550,000/- waakufuna 3,500,000/- buli mwezi.

Waali waakayita wiiki emu yokka ng’abawaabi b’emisango gya Gavumenti bakkirizza okudda ku mirimu, ate abalamuzi ne basitula enkundi nga bagamba nti ky’ekiseera nabo Gavumenti okutunula mu nsasula yaabwe.

Minisita w’Ebyamateeka, Maj. Gen Kahinda Otafiire yategeezezza nti enteeseganya zigenda mu maaso okulaba nti abalamuzi badda ku mirimu gyabwe.

Akeedimo k’Abalamuzi kaatandikiddewo okuluma ng’abeekitongole ky’amakomero baatageezezza nti baakonkomadde n’abasibe abasoba mu 1,500 be baabadde batutte mu kkooti ez’enjawulo ku Lwokutaano okweyimirirwa n’abalala okusalirwa ebibonerezo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20200402at65210pm 220x290

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire...

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire obukadde 500 lwa kumwonoonera linnya.

Ministernakiwalakiyingi 220x290

Coronavirus: Baminisita 3 bayomba...

Olutalo olugambibwa okuba wakati wa baminisita basatu nga luva ku ssennyiga wa coronavirus luvuddeyo mu lujjudde...

Bobiwinehavingamusicalmomentwithsingingpartnernubian 220x290

Coronavirus: Bobi Wine afulumizza...

Bobi Wine afulumizza oluyimba olupya ku ssennyiga omukambwe lw’azzizza ku lwa coronavirus alert olubadde lwakasaanikira...

Bigere 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE DDA...

Gavumenti enoonya abantu 900 mu bitundu mwe baazudde abalwadde ba corona.

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...