TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi etaasizza abawala 2 ku bazigu b'emmotoka

Poliisi etaasizza abawala 2 ku bazigu b'emmotoka

By Musasi wa Bukedde

Added 29th August 2017

Poliisi y'e Kawempe - Ttula etaasizza abawala babiri okuli Lydia Namirimu (25) ne Ritah Nakitto (19) ababadde bawambiddwa abazigu abatambulira mu mmotoka.

Bana1 703x422

Abawala Lydia Namirimu ne Ritah Nakitto poliisi b'etaasizza okuwambibwa abazigu. EKIF: MABLE NAKABUGO

BYA MABLE NAKABUGO

Abawala bategeezazza poliisi nti babadde bava waka nga bagenda Wandegeya gye batungira ebyalaani era we babadde baakatuuka ku ofiisi za kkampuni ya Spenkoni ekola enguudo, okumpi ne poliisi y'e Ttula mmotoka ekika kya RAV4 nnamba UAH 536Q n'ebasemberera abadde agivuga n'aggyako amataala. Zibadde ssaawa 11 ez'okumakya ga leero ku Lwokubiri.

Bagamba nti mmotoka bw'ebasemberedde omusajja omu n'aggulawo oluggi n'asikambula Ritah Nakitto nga bw'agezaako okumuyingiza munda ku mpaka.

Wabula Ritah ne munne balayizza enduulu esombodde abadduukirize mu bwangu wamu ne Poliisi y'e Kawempe ng'ekulembeddwaamu OC Dan Ampadde.

Poliisi ekozesezza obwangu obw'ekitalo n'egobagana n'abazigu wuuyo Mpererwe okutuusa e Kanyanya ku ssundiro ly'amafuta erya Gaz ababbi mwe babuukidde mu mmotoka ne badduka.

Ampadde ategeezezza nti emmotoka ababbi gye babaddemu bagikutte n'abawala ne bataasibwa, kyokka tebannassa mukono, bakyayigga bazigu abagibaddemu era tebajja kuweera okutuusa nga babagombyemu obwala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...