TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Tumukunde ayingidde mu by'ettemu e Ntebe: Abawala abaakattibwa baweze 23!

Minisita Tumukunde ayingidde mu by'ettemu e Ntebe: Abawala abaakattibwa baweze 23!

By Musasi wa Bukedde

Added 29th August 2017

Minisita Tumukunde ayingidde mu by'ettemu e Ntebe: Abawala abaakattibwa baweze 23!

Nkumba19 703x422

Tumukunde ng’ayogera ku mbeera eri e Ntebe. Ku kkono, ye mugenzi Nalule.

Eggulo Minisita w’obutebenkevu Maj. Gen. Henry Tumukunde yasisinkanye abakulembeze n’abebyokwerinda mu Ntebe azuule obuzibu we buli.

Yagambye nti obuzibu buva ku bamenyi b’amateeka abazza obusango obutonotono ne batakolebwako, olwo ne bagenda nga bakula mu buzzi bw’emisango ne batandika n’okuzza emisango egya nnaggomola.

Tumukunde yagambye nti bagenda kukolera wamu okunogera ekizibu kino eddagala nga bwe baakola ku kya bbomu ezaali zitegebwa mu Kampala emyaka 15 egiyise.

Abakazi be basse kuliko: Rosette Nakimuli gwe battira e Nkumba nga July 24, Norah Wanyana baamutta July 21, Aisha Kasowole nga July 13, Faith Komugisha yattibwa June 7, Goreti Nansubuga, Juliet Kyandali, Aisha Nakasinde, Sarah Nakajjo.

Engeri omuwala omulala gye yattiddwaamu

Abatuuze tebaasoose kukikkiriza nga babategeezezza nti ate waliwo omulambo gw’omuwala omulala gwe bazudde e Ntebe! Baabadde balowooza nti eyabadde ababikira ayogera ku mulambo gwe baazudde ku Ssande e Katabi kyokka n’alemerako nti:

Bye mbagamba bya batemu abaalumbye mu kiro ekikeesa Mmande ne batta omuwala omulala!

Abakazi abattiddwa e Ntebe kati baweze mwenda ate omuwendo gw’abaakattibwa mu Kampala n’emiriraano mu myezi esatu gyokka baweze 23.

Baatambudde nga boolekera ekirombe ekiyitibwa Kayiira okuliraana ekibira ky’e Kyewaga mu Nkumba Central era amaaso baagakubye ku mulambo gw’omuwala omulala.

Abaakuhhaanye beetegerezza omuwala ne bakizuula nga ye Jalia Nalule 28, ow’e Mpala mu Ntebe. Bino okubeerawo ng’omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura yaakagenda e Ntebe n’abakakasa nti obutemu buno bategedde we buva era bugenda kuggwaawo.

Fatuma Nassanga muganda wa Nalule ye yasinze okubakakasa nti eyabadde attiddwa ye muganda we, ng’alabira ku kasawo aka pinki akaabadde ku mulambo.

Nassanga yagambye nti yayazika Nalule akasawo ako ng’amutegeezezza nti agenda Nkumba era mu byali bimututte kwaliko okusasula bbulooka ze yali akubisizza mu kirombe.

Omu ku baddukanya ekirombe ekyo baamukutte ayambeko mu kunoonyereza. Nalule abadde yaakava e South Sudan gye yaggye ssente ezikubisa bbulooka ng’alina entegeka ezeezimbira ennyumba ey’ekikazi.

Okufaanana n’obutemu obuzze bukolebwa, Nalule baasoose kumusobyako era ne bamufumita ebiti mu bitundu by’ekyama.

Poliisi yabadde nkambwe nga tekkiriza bantu kutuuka wali mulambo.

Nassanga yagambye nti Nalule yava awaka nga August 18, kyokka bw’ataakomawo ne batandika okunoonya era we baamuzuulidde nga wayise ennaku 10 bukya abula.

Mu nnaku bbiri zokka, abakazi babiri be battiddwa mu kitundu ky’e Ntebe ekyongedde okuteeka abantu ku bunkenke naddala abakazi mu kitundu nga beebuuza ebibuuzo:

Baani abatutta? Bagenderera ki mu butemu buno? Lwaki batta bakazi bokka? Lwaki poliisi eremeddwa okubakolako? Obutemu obw’ekika kino bwasooka Nansana mu May 2017 gye baakattira abakazi 14, kyokka mu June 2017 ne buyingira e Ntebe era baatandikira ku kutta Faith Komugisha.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...