TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusuubuzi aggyeemu akawale n’akakuba poliisi mu kwekalakaasa e Nateete

Omusuubuzi aggyeemu akawale n’akakuba poliisi mu kwekalakaasa e Nateete

By Musasi wa Bukedde

Added 29th August 2017

Omusuubuzi aggyeemu akawale n’akakuba poliisi mu kwekalakaasa e Nateete

Kuba1 703x422

OLUVUVUUMO ku by’okutunda akatale k’e Nateete akamaze emyaka egisukka mu 90, lumaze emyaka egiwera 10, okutuusa jjo ly’abalamu lwe kyavuddeyo mu lujudde nti akatale kituufu kaatundibwa.

Mu 2007, ebigambo byayitihhana nti akatale ka Nateete kaali katundiddwa, ekyatuusa Palamenti okuyita Ruth Kijjambu , eyali Town Clerk we Kampala abitebye.

Kijjambu yategeeza nga ebyapa okuli akatale bwe byali bibbiddwa okuva mu kifo KCCA we yali ebiterekera bulijjo.

Ekyapa ekimu kyali mu mannya ga Haji Asuman Numba eyali amanyiddwa nga “Magatto” nga kya yiika nnamba ate ekirala nga kiri mu mannya ga KCCA ekiweza obunene bwa decimal 48.

Fred Bamwine, eyali omubaka wa Pulezidenti e Lubaga yavaayo n’agugumbula abaali bakulira ekitongole kya KCCA olw’okwenyigira mu kubuzaabuza ebyapa by’akatale.

Yasaba poliisi enoonyereze amayitire g’ekyapa ky’akatale k’e Nateete.

Bwe bityo eby’okutundibwa kwa katale k’e Nateete byasigala mu hhambo, okutuusa mu June wa 2017 eyali ssentebe w’akatale, Haji Rashid Kibirige bwe yafaayo n’ategeeza abasuubuzi nga bwe yali afunye bwino ng’akatale kaabwe kaatundibwa.

Kino kyaggya abasuubuzi mu mbeera ne bamugoba ku bukulu ne balonda, Bonny Kabugo ku bwassentebe obw’ekiseera. Abaludde mu katale kano bagamba nti kaatandika mu 1928.

Mmengo Munisipaali yafuna liizi ku ttaka lino nga December 14, 1964 nga ya myaka 99. Nga March 28, 1969 akatale kadda mu mikono gya KCC oluvannyuma lwa Obote okuwamba ebintu bya Buganda byonna.

Kyokka nga November 6, 2016 akatale kadda mu mikono gya Nateete Vendors Company.

Ebiwandiiko ebyazuulwa oluvannyuma biraga nti ettaka okuli akatale, lyaguliddwa kkampuni ya RR Family Transporters okuva nga May 18, 2017.

Bano baakagulira ku nnyondo, oluvannyuma lwa famire ya Haji Numba okwewola ssente ku manerenda ne basingayo ettaka okuli akatale ne zibalema okusasula .

Moses Kasibante (Lubaga North) agamba nti wandiba nga waliwo abakungu mu KCCA abeekobaanye okutunda akatale kano ne batuuka n’okwegaana nti tebakamanyi wadde nga babadde bakasolozaamu ssente.

Waliwo ebbaluwa eyawandiikibwa Caleb Mugisha, ng’ono munnamateeka wa KCCA ng’awandiikira kkampuni ya Kaggwa and Co. Advocates eyakiikirira kkampuni ya RR abaagula akatale ng’abalaga nga bwe batamanyi katale koogerwako.

Akakiiko ka Palamenti akabuuliriza ku bitongole bya Gavumenti aka COSASE akakubirizibwa Abdu Katuntu (Bugweri ) gye buvuddeko baabuuza abakungu ba KCCA abaakulemberwa Jennifer Musisi ku nsonga y’obwanannyini bw’akatale k’e Nateete.

Eno y’emu ku nsonga eyafulumira mu lipooti y’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti ey’omwaka 2013/2014.

Aba KCCA baategeezezza nti famire ya Haji Numba yawangula ekitongole kya KCCA ku musango ogwali mu kkooti.

Baagambye nti wadde ekitongole kyali kisazeewo okugula ettaka lino, kyokka ssente ze baali babasalidde okugula tebaazimalaayo.

Baagambye nti ekitongole kya KCC oluvannyuma kyagala okutunda ettaka lino okuli akatale eri musigansimbi, kyokka aba famire y’omugenzi Numba ne beekubira enduulu mu kkooti.

Harriet Mudondo atwala eby’obutale mu KCCA yategeeza Palamenti nga bwatamanyi katale Nateete, nti k’amanyi kali Busega.

Bonny Kabugo akolanga ssentebe w’abasuubuzi ow’ekiseera yategeezezza nti balina olukiiko leero (Lwakubiri) n’abakulembeze ba KCCA.

Kyokka singa olukiiko teruvaamu kalungi, bagenda kuddamu okukolera mu luguudo ku Lwokusatu (enkya) okutuusa nga bamaze okufuna obuyambi.

“Akatale kano kakoleramu abasuubuzi abawera 30,000 olunaku era nga tekawummula essaawa 24.

Ab’emisana baba bannyuka ate abakola ekiro nga bayingira, noolwekyo okutugobaganya obeera okosezza abantu b’otomanyi muwendo”. Ssentebe Kabugo bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’