TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusezi yeetutte ku Poliisi n'abagamba akooye okulya ennyama y'abantu.

Omusezi yeetutte ku Poliisi n'abagamba akooye okulya ennyama y'abantu.

By Musasi wa Bukedde

Added 29th August 2017

Baamubuuzizza obukakafu ku by'ayogera n’abaggyirayo okugulu kw’omuntu n’omukono n'abikuba ku mmeeza abaserikale ne beesika!

437e67d7000005780imagea231503502767717 703x422

Poliisi ng'ekuuma abaabadde ku kkooti obatakola ffujjo

OMUSAJJA e South Afrika amazeeko poliisi ebyewungula bw'ayingidde ku poliisi mu kabuga k’e Estcourt mu disitulikiti y’e Thukela  mu ssaza lya Kwazulu – Natal n’abategeeza nti ye akooye okulya ennyama y’abantu!

Abaserikale bwe baalabye obukakafu buno, ebibuuzo byabaweddeko ne bamukwata ne bamukuba mu kaduukulu n’ayogera banne bwe babadde mu mulimu gw’okulya abantu okuli n’omusamize.

 Ennyumba y'abasezi omwasangiddwa emirambo

Lungisani Magubane yatutte abaserikale mu makaage e Rensburgdrift gye baasanze ebitundu by’abantu ebirala oluvannyuma ne bagenda mu maka g’abasajja abalala abasatu nayo ne basangayo ebitundu by’abafu.

Abaakwatiddwa kuliko; Nino Mbatha, 32, omusamize ku kitundu, Lindokuhle Masondo, 32; Sthembiso Sithole, 31, ne Lungisani Magubane 30, eyeetutte ku Poliisi mwene.

Okukwata bano kiddiridde omuwala Zanele Hlatshwayo, 25, eyabula nga July 25, bwe yali agenda ku kyalo Pietermaritzburg okukyalira jjajjaawe wabula n’atatuuka era n’ataddamu kulabikako.

 oliisi ya stcourt omusezi gye yeetutte Poliisi ya Estcourt omusezi gye yeetutte

Okuva olwo poliisi yatandika omuyiggo okutuusa omu ku basajja abasezi bwe yeewaddeyo era nga Poliisi ekola omuyiggo n’okwaza ennyumba z’abasajja bano, mwe yagwiiridde ne ku ngoye ezigambibwa okuba Zanele (ze yayambala ng'asiibula awaka) nga zivulubanye omusaayi.

Omwogezi wa poliisi y’e South Afrika, Col. Thembeka Mbhele, ategeezezza bannamawulire nti, abasajja abana baabakutte ne babatwala mu kkooti y’e Estcourt ne basindikibwa ku limanda, bajja kukomezebwawo mu kkooti wiiki okusaba okweyimirirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...

Dit2 220x290

Noah Kiyimba asabye abakulembeze...

Noah Kiyimba asabye abakulembeze b'e Butambala okkolera awamu

Ta 220x290

Bannansi beesiga bakulembeze ba...

POLOF. Julius Kizza okuva mu yunivasite e Makerere agambye nti bannansi okumanyisibwa ebifa mu gavumenti tekubeera...