TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ageze bba nga yeebase n'amukuba akakumbi ku mutwe n'amutta lwa kuzaala bbali!

Ageze bba nga yeebase n'amukuba akakumbi ku mutwe n'amutta lwa kuzaala bbali!

By Musasi wa Bukedde

Added 30th August 2017

OMUKAZI obuggya bumulinnye ku mutwe n'abaka enkumbi n'agera bba gw'alinamu abaana bana nga yeebase n'amutemaatema okutuusa lw'amusse!

Kuba1 703x422

Nassolo eyasse bba ng'awulubadde. Ku ddyo, Kayondo gwe basse.

Kino olwamaze n'akwata amasuuka agavulubanye omusaayi n'agannyika mu bbaafu oluvannyuma n'alaya enduulu nti waliwo abatemu ababalumbye ne batta bba!

Kyokka kino abatuuze baakitankanye kubanga babadde bamanyi nti, abafumbo bano balina obutakkaanya mu maka nga kiva ku kuzaala omwana ebweru.

Okuva omukazi lwe yakimanya yatandika okuwera nti, agenda kukolawo ekikyamu ku musajja gw'abadde alumiriza obwenzi ekyamutuusizza okuzaala omwana ebbali!

Abatuuze baakunyizza omukazi n'akkiriza kyokka n'asaba ekisonyiwo ekinyiizizza abatuuze ne batandika okumulirika emiggo nga baagala bamutte okutuusa ssentebe w'ekyalo bw'atemezza ku poliisi y'ekitundu n'emutaasa.

Ettemu lino lyabadde ku kyalo Kyakaleera mu ggombolola y'e Kirumba e Kyotera mu kiro ekyakeesezza Mmande.

booluganda nga baaziiranaAbooluganda nga baaziirana.

Harriet Nassolo 30 y'agambibwa okutta bba Joseph Kayondo 35 gw'alinamu abaana bana ng'amulanga okuzaala mu mukazi omulala.

Ssentebe w'ekyalo kino Paulo Ssewajje agamba nti, obutakkaanya mu maka gano ne poliisi ebadde ebumanyiiko kubanga Nassolo yawera okutuusa obulabe ku musajja oba ku mukazi yennyini eyazaala omwana.

Poliisi y'e Kaliisizo yakutte Nassolo n'emutwala ku kitebe kya poliisi gye yagguddwaako ogw'obutemu ku fayiro nnamba SD:02/28/08/2017.

Omuduumizi wa poliisi e Kyotera Musa Kayongo yakakasizza okukwatibwa kwa Nassolo n'ategeeza nti, agenda kutwalibwa mu kkooti nga poliisi emalirizza okunoonyereza avunaanibwe omusango gw'okutta bba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.