TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kadaga akunze bannaddiini okubuulirira abaana ku by'okwegatta

Kadaga akunze bannaddiini okubuulirira abaana ku by'okwegatta

By Muwanga Kakooza

Added 31st August 2017

SIPIIKA Rebecca Kadaga asabye bannaddiini n’abakulembeze by’ebyennonno okutandika okwogera eri abaana abavubuka ku bulabe obuli mu kupapira eby’okwegatta mu by’omukwano ng’agamba nti bivuddemu abatanetuuka okufuna embuto olumu ne Siriimu.

0yibg1hm3zxe3vhrr 703x422

Sipiika Kadaga

Kadaga agamba nti abaana abato abamu abalina emyaka nga  kkumi beenyigira mu by’omukwano gw’abakulu  n’ategeeza nti ebibiina ng’ekigatta abakyala Abakulisitaayo abafumbo ‘Mothers Union’ , bannaddiini abalala n’abakulembeze by’ennonno ky’ekiseera okuvaayo babeeko kye bakola.

Yabadde ayogera eri mu nsisinkano ekwata ku by’okulung’amya abantu ku by’omukwano olwabadde mu Sheraton Hotel mu Kampala.

Kadaga agamba nti wadde okwogera ku by’omukwano bya nsonyi mu buwangwa bw’Abaddugavu, tekisaanye kulobera banddiini n’abakulembeze by’ennonno okulung’amya abaana abato ggwanga lireme kufafagana.

Yawadde amasomero amagezi okussaawo ebibiina ebigatta abayizi mwe basobolera okutuula awamu ne boogera ku bikwata ku by’omukwano n’obuzibu obusobola okubivaamu babipakukiddemu.

Kadaga yemulugunyizza ku ngendo empanvu abawala be batambula okugenda ku masomero n’enzizi bye yagambye nti bibasuula mu bikemo.

Omusomesa w’endwadde z’obukaba eyawummula Polof.  Florence Mirembe yagambye nti abatiini bangi abali embuto, era balina obuzibu bw’okwagala okuziggyamu,abamu balina siriimu n’obulwadde bw’ekikulukuto.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ramos4542051 220x290

Ramos mukoowu mu Real

Ramos yatudde ne pulezidenti Perez ne beegeyaamu ku by'okusigala kwe mu Real Madrid.

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...