TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga Kiyimba Freeman, ow'Ettoffaali asaasaanyizza obukadde 450 ng'ajaguza emyaka 10 mu bufumbo!

Omugagga Kiyimba Freeman, ow'Ettoffaali asaasaanyizza obukadde 450 ng'ajaguza emyaka 10 mu bufumbo!

By Musasi wa Bukedde

Added 16th October 2017

Freeman nga ye ssentebe w’olukiiko lw’Ettoffaali era yabadde ajaguza n’okuyingira ennyumba yaabwe amatiribona egambibwa okuwemmenta obuwumbi 10.

Goba1 703x422

Bakiyimba nga bayingira ekidaala gye baagabulidde abantu. Emabega eyali besitimaami mu 2007 Richard Kakonge bba wa minisita w’e Mmengo Sylivia Mazzi ne ku luno ye yabadde. Ku ddyo, Enju yaabwe eyabamazeeko obuwumbi 10.

Bya JOSEPH MUTEBI ne DICKSON KULUMBA

AKULIRA okusolooza ettoffaali, John Fredrick Kiyimba Freeman yalaze ky’alinawo bwe yagambye nti yatadde ssente 450 mu kabaga k’okujaguza okuweza emyaka 10 mu bufumbo Obutukuvu ne mukyala we Olivia.

Omukolo gwatandise na kuggulawo maka gano mu butongole era kwakoleddwa Omulabirizi w’e Mityana, Steven Kazimba Mugalu ng’ayambibwako Omulabirizi w’e Mukono eyawummula Eria Paul Luzinda, omulabirizi w’e Mityana eyawummula Wilson Mutebi, Dustan Bukenya ne Bannaddiini abalala abeegattiddwaako ne Cansala w’essaza ekkulu erya Kampala, Fr. Joseph Ssebunnya ne Bwanamukulu wa Lutikko y’e Lubaga, Fr. John Mary Bbuye.

.........................................................................................

EBIRALA........

Ennyumba ya Kiyimba Free Man ewuniikirizza abagagga!

Omugagga Kiyimba Freeman ow’Ettofaali bamweweredde okumutta

..........................................................................................

Olwo Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga n’agiggulawo mu butongole n’asimba n’omuti gw’ebibala mu luggya. Mu kusaba kuno mwe baabatirizza ne mutabani wa Kiyimba, Jeremiah Ssuuna Bakiyimba beebazizza Katonda okubawa ensimbi ezitalina alina ate n’abassaako n’ekitiibwa n’okubasobozesa okukola emirimu.

Kazimba yakuutidde Bannayuganda okubeera abakozi ng’ate basooke kukulembeza Katonda ne yeebaza ba Kiyimba okujjukira Katonda mu bugagga bwabwe.

Okusaba olwawedde abagenyi abaabadde basukka mu 2000 ne balya n’okunywa buli omu ky’ayagala okuva ku ssaawa 4:00 ez’oku makya ku Lwomukaaga okutuusa ssaawa 8:00 ogw’ekiro ng’abantu abasinga tebakyategera bigenda mu maaso ku nsi.

Ebyokulya kwabaddeko buli kye wali olowoozezzaako era abagenyi baasindisizza bigere. Kiyimba ne Olivia baasoose kwambala kkanzu ne gomesi mu kusaba bwe bamaze ne bakyusa emirundi ena era bazzeemu ne bambala ebyobugole.

BAJETI 450 Basaze embuzi 30, ente nnya, omwenge gwa bukadde 100 ng’ogumu baagutumiza South Afrika, keeki ya bukadde 20, engoye bukadde 40, ez’omukyala zaavudde Amerika ne Turkey ate ez’omusajja ne beesitiman we zaavudde Yitale.

Abatimbi ne kalonda omulala bya bukadde 40 n’ebirala.

Mu kwogera kwe, Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yagambye ayagala nnyo Kiyimba kubanga musajja mukozi, muwulize, amuwa amagezi ate alina omutima ogwagaliza Obuganda.

Ye Kiyimba yategeezezza nti obugagga bwe bw’atuuseeko abadde tabba bubbi wabula okukulembeza obukozi. Nti ku bukozi buno n’obwesige, bakama be okuva mu kkampuni ya Bidco ne ya Kinyara Sugar kwe baasinziira okumwesiga era kye kimufudde ky’ali.

Yagambye nti olw’obutabeera mubbi ky’ava yayise ne bakamaabe baggye balabe n’ennyumba gy’azimbye nga talina ky’akwekerera.

Ye ssentebe w’abagagga Godfrey Kirumira yatumye nnampala wa Gavumenti, Ruth Nankabirwa ewa Pulezidenti Museveni aleme kukyawa basuubuzi kubanga nabo bantu be.

Abanene abalala abaabadde ku mukolo guno kwabaddeko Omulangira David Wassajja, Bannaalinnya, Omulangira, Jjujju n’Omumbejja, Nassolo ne Namasole Nagawa Siwoza ssaako baminisita okuva e Mmengo.

Abalala kwabaddeko; Gen Katumba Wamala, omulamuzi Richard Butera, abagagga John Ssebalamu ne Steven Katabaazi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...