TOP

Embwa zirumye abayizi 5 ne zittako 2 e Mityana

By Paddy Bukenya

Added 17th October 2017

EMBWA zirumye abaana b'essomero bataano babiri ne bafiirawo!

Mbwa2 703x422

Esther atuganire eyalumiddwa embwa

Bino byabadde ku kyalo Ssinga mu muluka gw'e Kayanga mu ggombolola y'e Banda - Mityana. 

Abafudde kuliko; Vicent Kabugo (8) abadde asoma P.3 mu Kayanga P/S ne Twaha Kiragala  (4) ngano Yafudde atwalibwa mu ddwaliro Entebe okufuna obujanjabi. 

Abalala abasatu abakyajjanjabibwa mu ddwaaliro e Ntebe ye Esther Atuganire (10) embwa gwe zaalumye emikono n'okugulu, Ronald Kisekka (4) ne Joan Nakazibwe (6) gwesalumye ku liiso natwalibwa mu ddwaliro Entebe naafuna obujanjabi. 

Ssentebe wa LC1 yategeezezza nti embwa ezisoba mu 400 ze zitayaayiza ku kyalo nga kati abatuuze batambulira mu nga n'okukima emmere mu nnimiro oluusu basiibawo enjala olw'okutya embwa okubaluma. Kyokka abasiba emitima ne bagenda mu nnimiro batambula n'embuukuuli z'emiggo wamu n'amajambiya okwekuuma.

Sssentebe yategeezezza nti n'abaana abasoma kati batya okugenda ku ssomero olw'embwa zino.

Abatuuze balaajanidde abakungu b'ebyobulamu ku disitulikiti okusitukiramu batte embwa ezifuuse obuzibu ku kyalo.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaba 220x290

Roden Y Kabakko ne Vinka bayingidde...

Wakati mu lutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso, Cindy yatuuse n’okugamba nti; ‘’Nneewuunya abayimbi abeeyita nti...

The 220x290

Cindy Ssanyu ne Sheebah bayomba:...

OLUTALO wakati Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba emiziki n’obuganzi...

Wano 220x290

Museveni atongozza ebbibiro lya...

EKITONGOLE ekigereka ebisale by’amasannyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Regulatory Authority kigambye...

Kadaga703422 220x290

Ebikwata ku Rebecca Alitwala Kadaga...

Yazaalibwa May 24, 1956 ng’alina emyaka 63

Godo 220x290

Museveni alambudde Kadaga mu ddwaaliro...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga mwongere okumusabira. Mulwadde muyi. Abamujjanjaba mu ddwaaliro e...