TOP
  • Home
  • Agawano
  • Bannayuganda 48 bafiiridde mu mawanga ga Buwarabu

Bannayuganda 48 bafiiridde mu mawanga ga Buwarabu

By Musasi wa Bukedde

Added 18th October 2017

ABABAKA ba Palamenti abatuula ku kakiiko k’embeera z'abantu n’amawanga ag’ebunaayira baagenze mu nsi za Buwarabu awagambibwa okutwalibwa Bannayuganda okukola.

Abala703422 703x422

Omubaka David Abaala

Kyababuuseeko okukizuula nti 48 be baakafa mu myezi mwenda gyokka okuva mu January wa 2017 olw’embeera embi gye bakoleramu.

Omubaka wa Ngora, David Abaala yategeezezza bannamawulire mu lukiiko olwatuuziddwa ku Palamenti gye buvuddeko nti baakyadde e Dubai ne Abu Dhabi.

Yagambye nti abantu 35 betta bwessi ate omu yayabika omutima. Abalala batulugunyizibwa okukamala ate abamu balina obuzibu ku bibumba era embeera gye bakoleramu mbi ddala.

Bo ng’abaakakiiko beebuuzizza lwaki Gavumenti ekyakkiriza amakampuni okutwala Bannayuganda okukolera mu nsi z’abawarabu ate nga tebakolanga nazo ndagaano ekkiriza okutwala Bannayuganda okukolerayo.

Yagambye nti Bannayuganda babonaabonera mu nsi nga UAE, Kuwait, Oman ne Bahrain era tebalaba Gavumenti ky’ekozeewo okulaba nga bakuumibwa.

Yagasseeko nti, abamu ku bafa, baba tebaweebwa mukisa kuwuliziganya na bahhanda zaabwe era baziikibwa mu malungu!

Akakiiko kaasabye Gavumenti ennyonnyole lwaki Bannayuganda balekeddwa okusaanawo mu mikono gy’abantu be baayise abayala.

Mwine Mpaaka, omubaka w’abavubuka yategeezezza nti buli mwaka Bannayuganda 65,000 batwalibwa mu nsi z’Abawarabu okukola.

N’agamba nti kkampuni bw’etwala omuntu okukola, emulondoola emyezi esatu egisooka n’ebivaako.

Yagambye nti okukukusa abantu kweyongedde mu Uganda. Yanokoddeyo abakazi basatu; Cathy, Sharifa Nagawa ne Hawa ab’e Kajjansi abagambibwa okutwala abantu mu mawanga ga Bawarabu nga babakukusa.

Akakiiko kaasabye Gavumenti eyimirize bonna abatwala abantu mu mawanga gano nga tebakolanga ndagaano na Gavumenti ebakkiriza omulimu guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans