TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuntu omu afiiridde mu lukung'aana lwa 'Togikwatako' e Rukungiri

Omuntu omu afiiridde mu lukung'aana lwa 'Togikwatako' e Rukungiri

By Musasi wa Bukedde

Added 18th October 2017

OMUNTU omu afiiridde mu lukung'aana lwa ‘’Togikwatako’’ e Rukungiri oluvannyuma lwa poliisi okubakubamu amasasi nga balwanagana nayo bw'ebadde eremesa Col. Kiiza Besigye okugenda mu kisaawe okwogera gye bali.

Kwata 703x422

Bino bibaddewo e Rukungiri poliisi ng'egezaako okulemesa Besigye  ne bannabyabufuzi b’oludda oluvuganya gavumenti okubadde Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago n’avuganya ku bwa Pulezidenti bwa FDC Patrick Amuriat okwogera eri abantu  mu kisaawe e Rukungiri.

Abantu bataamye  ne batandika okugikasukira amayinja  nayo n’ebaddiza omuliro ng’ebakuba amasasi ne ttiyaggaasi.

Afudde ategeerekeseeko lya Kato  ng’abadde muvuzi wa bodaboda ku siteegi ya Nabugabo  mu Kampala.

Oluvannyuma lw’abantu okulinnya poliisi ku nfeete, bakutte omulambo  obwanga ne babwolekeza ekitebe kya poliisi e Rukungiri era bwe babadde batuuka poliisi n’eddamu buto okubakubamu ttiyaggaasi omulala olwo ne babuna emiwabo.

Akanyoolagano nga Poliisi eremesa Besigye okutuuka ku kisaawe awabadde oluklung'aana katutte essaawa 2 Kyokka oluvannyuma atuuse n’ayogera eri abantu n’agamba nti aba 'Togikwatako' tebajja kussa mukka okutuusa ng’eggwanga linunuddwa.

Wabula Poliisi etegeeezza nti baabadde tebagitegeezezza nti wagenda kubaawo olukung’ana wadde nga Amuriat ategeezezza nti yababuulidde ku lukung'aana lwe kyokka ne bagaana okumuwuliriza.

Omwogezi wa Poliisi mu ttuntutundu lya Kigezi, Elly Mate ategeezezza nti omuntu omu y'afiiridde mu kavuvung'ano kano era akubiddwa jjinja so ssi ssasi ng'abantu bwe babityebeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono