TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Togikwatako: Aba FDC 4 e Mbarara tebamanyiddwaako mayitire

Togikwatako: Aba FDC 4 e Mbarara tebamanyiddwaako mayitire

By Muwanga Kakooza

Added 22nd October 2017

ABAWAGIZI ba FDC bana e Mbarara tebamanyiddwaako mayitire oluvannyuma lw’okukwatibwa ab’ebyokwerinda abatabaadde mu yinifoomu bwe baabadde bagenda okutogonza ‘Togikwatako’ mu kibuga kino ku Lwomukaaga.

Panda1 703x422

Abaserikale nga bawalaawala abawagizi ba FDC

Ssentebe w’abavubuka ba FDC, Yasin Matsiko, munne Mohammad Mpagi  n’abalala babiri abatannamanyika mannya be baakwatiddwa abaserikale abaabadde  mu ngoye eza leeya nga bambalidde emmundu okwabadde pisito ttaano n’ennene AK 47 ssatu ne babassa mu mmottoka ya buyonjo ku Lwomukaaga ne batwalibwa mu kifo ekitannamanyika.

Ab'eng'anda zaabwe basattira ng’abamu bali mu maziga olw’obutamanya bantu baabwe gye bali nga bagamba nti batuuse ku poliisi n’ebagamba tebalina.Ababakutte babayingiza emabega w’emmottoka ey’ekika kya ‘Noah’ n’ebulawo.

Bino byabaddewo ku Lwomukaaga ssaawa nga ttaano abavubuka ba FDC bwe baabadde bagenda okutongoza ‘togikwatako’ ku Confort Hotel e Mbarara.

Bukedde eyabadde agenze okukwata amawulire yasanze abavubuka babafukamizza wansi era oluvannyuma ne bayingizibwa mmottoka.

Mukyala wa  Yasin , Aisha Nakayima yagambye  yabadde tamanyi nti bba yakwatiddwa. Ate mukyala wa Mpagi, Amina Naluyinda,  eyabadde akaaba yagambye nti guno ssi gwe gusoose bba okukwatibwa. N’agamba nti bombi baakwatibwako ne batwalibwa e Nalufenya ne bakomawo ng’embeera ssi nnungi.

Omuduumizi wa poliisi e Mbarara Isac Kambugu yagambye talina ky’abimanyiiko. Ate omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Rwizi Samson Kasasira naye yagambye tanabitegeera bulungi.

Akulira ekibiina ky’eddembe ly’obuntu ekya ‘Foundation for Human Rights Initiave’ Dr. Livinstone Ssewannyana  avumiridde ekikolwa kino n’agamba nti ebintu nga bino bijja kwongera abantu obusungu era biyinza n’okuvaamu okuyiwa omusaayi.

Agamba nti buli ludda lusaanye okuwuliriza lunnaalwo n’ab'ebyokwerinda okukomya okutulugunya abawakanya ‘Okugikwatako’.

Omumyuka w’omwogezi wa FDC, Paul Mwiru, yagambye nti abaakwatiddwa bwe baba balina omusango babaleete mu kkooti.

N’ayongerako nti bwe kitaakolebwe mu nnaku bbiri bagenda kweyambisa amateeka babakake okubata.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...

Banja 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

KABAKA Mutebi II ayise Sultan Muhammadu Sa’ad Abubakar III, omukulembeze w’Obwakabaka bwa Sokoto mu Nigeria okubeerawo...

Funayo 220x290

Abantu 15,000 basuliridde kusengulwa...

ABATUUZE basoba mu 15,000, abali ku ttaka eririko enkaayana mu munisipaali y’e Njeru e Buikwe emitima gikyabeewanise...