TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni asisinkanye abagenda okuzimba eddongooserezo ly'amafuta

Museveni asisinkanye abagenda okuzimba eddongooserezo ly'amafuta

By Musasi wa Bukedde

Added 24th October 2017

PULEZIDENTI Museveni asisinkanye aba kkampuni egenda okuzimba eddongooserezo ly’amafuta agagenda okutandika okusimwa mu Uganda.

140224155344ugandagaylawyowerimusevenifullintv00004111horizontallargegallery 703x422

Pulezidenti Museveni

Eddongooserezo ly’amafuta lino ligenda kuzimbibwa e Kabaale mu disitulikiti y’e Hoima e Bunyoro era aba kkampuni ya General Electric  (GE) Consortium beeyamye okukola omulimu guno.

Pulezidenti Museveni yasisinkanye n’abakungu ba kkampuni eno abakulembeddwa  omumyuka wa Pulezidenti waayo  avunaanyizibwa ku nsonga za Africa wansi w’eddungu Saraha, Ado Oseragbaje.

Ensisinkano yabadde mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe. Kkampuni eno erimu ekibinja ky’amakampuni agagenda okukolera awamu  nga omuli aba ;  General Electric (GE), YAATRA Ventures LLC, Intra Continent Holdings Ltd,ne Saipem.

Pulezidenti Museveni yategeezezza mu nsisinkano eno nti Uganda yeewaddeyo okuzimba eddongooserezo ly’amafuta eriri ku mulembe mu bya tekinoligiya naye nga teritutte ssente nnyingi.

Era lirina okuba nga lisobola okutondawo emirimu eri abantu ba Uganda nga liganyulwa Uganda n’abalitaddemu ensimbi okulizimba.

Ado Oseragbaje, yagambye nti ekibinja ky’amakkampuni ekigenda okukola ogw’okuzimba enndongoserezo lino ssi kye kigenda okuganyulwa mu mulimu guno wa Uganda ne Africa okutwalira awamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...