TOP
  • Home
  • Amawulire
  • DP etaamye ku bya 'Togikwatako': Etaddewo eggye eryayo

DP etaamye ku bya 'Togikwatako': Etaddewo eggye eryayo

By Muwanga Kakooza

Added 24th October 2017

DP etegeezezza nti etaddewo eggye eryayo ery’okugikuuma ng’eri mu kukuba enkung’ana za ‘’Togikwatako’’ era n’egaana n’ababaka baayo aba Palamenti okukwata ku bukadde 29 ezaaweereddwa buli mubaka okugenda yeebuuze ku bantu ku by’okukyusa akawaayiro k’ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Dp2 703x422

Omwogezi wa Pulezidenti wa DP Fred Mwesigwa (ddyo) ng’ayogera eri bannamawulire. Ku kkono ye Ssabawandiisi w’ekibiina Gerald Siranda.

DP era ewakanyizza ekirowoozo ky’eyavuganya ku bwapulezidenti, Abed Bwanika ne bannaddiini eky’okukozesa akalulu k’ekikungo abantu okusalawo ku nsonga y’okukyusa akawaayiro k’ekkomo ku myaka ng’egemba nti bino byonna biyamba Pulezidenti butava mu ntebe.

Kyokka balaajanye nti omubaka waabwe Betty Nambooze (Mukono munisipaali) ali mu mbeera mbi ne basaba sipiika Rebecca Kadaga okubaako ky’akolawo okukaka olukiiko lwa gavumenti oluwa abantu olukusa okugenda okujjanjabirwa ebweru olwa ’’Uganda Medical Board’ omukkiriza okutwalibwa ebweru kuba yakubwa ali ku mulimu munda mu Palamenti.

Bino byabadde  mu lukung’aana lwa bannamawulire olwayogereddwaamu Ssabawandiisi w’ekibiina, Gerald Siranda n’omwogezi wa pulezidenti waakyo, Fred Mwesigwa ku City House mu Kampala.

Siranda yagambye nti DP etaddewo eggye eryayo ly’etuumye ‘’DP defence forces’’ erigenda okugikuuma ng’ekuba enkung’ana za ‘’k’ogikwatako’’. Kyokka teyayogedde ddi lwe litandika mirimu.

Poliisi n’ebitongole ebikuuma ddembe bizinnya nnyo aba ‘’togikwatako’’ oguze ng’ekuba ttiya ggaasi mu nkung’ana n’olumu amasasi okuzigumbulula.           

Baavumiridde ekya poliisi okweyambisa eryanyi eriyitiridde omuli n’amasasi  e Rukungi ekyavuddeko omu okufa n’abalala babiri ne balumizibwa. Ne basaba poliisi ereme kweyambisa masasi gatta ng’eri mu kugumbulula enkung’anya ezirimu abantu abatalina kissi kyonna.

DP etegeezezza nti egenda kweyambisa obukodyo obulala bungi obwa ‘Togikwatako’ omuli n’abantu ssekinnoomu okutambulira ku pikipiki nga babunya enjiri eno. Era baagenze ne mu kkooti okulaba oba basobola okuyimiriza ebigenda maaso mu palamenti kuba ebbago lyaleetebwa ab’oludda oluvuganya bagobeddwa mu Palamenti.

Mwesigwa yakunze abantu obutalonda bawagira kukyusa Konsityusoni mu kulonda kwa LC 1 okubindabinda n’agamba nti aba ‘’Togikwatako’’ bokka be balina okwefuga obukiiko.

Yagambye nti bassentebe ba DP ku disitulikiti n’amagombolola be balina okulonda abagenda okwesimbawo ku lw’ekibiina mu kulonda kwa LC1.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...