TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amagye gakutte b'ofiisa ba Poliisi abalala ku by'okutta Kaweesi

Amagye gakutte b'ofiisa ba Poliisi abalala ku by'okutta Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Added 27th October 2017

AKASATTIRO keeyongedde mu poliisi, ng’ekitongole ky’amagye ekikessi kigenda mu maaso n’okukwata boofiisa ba poliisi abalala.

Vuga 703x422

Baroza (asaziddwaako) n’abamu ku baali mu kibinja ekyasooka awatemulirwa Kaweesi (wansi).

Abaakwatiddwa bakyali mu mikono gy’abaserikale b’ekitongole ky’amagye ekikessi ekya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) ekibanoonyerezaako.

Ku makya g’Olwokuna, baatwaliddwa mu nkambi y’amagye e Makindye we baabaggalidde. Baatuusiddwa wakati mu bukuumi obw’amaanyi.

ACP Joel Aguma akulira ekitongole kya poliisi ekikwasisa empisa ekya PSU, SSP Nickson Agasirwe eyali akulira ekitongole kya Special Operations Unit (SOU) ne Sgt. Abbey Tugume ne Abel Omong be baasoose okutuusibwa e Makindye ku Miritale.

BAKWATIDDEMU NE OFIISA AZAALA OMUYIMBI MARO

Mu balala abaakwatiddwa kuliko ASP James Magada ng’ono ye taata w’omuyimbi Maro (amannya amatuufu Ronald Magada era ye yayimba Mubbi bubbi ng’ali ne David Lutalo).

ASP Magada akolera mu kitongole kya poliisi ekikessi ekya Crime Intelligence.

ASP Magada yali ku mwanjo nnyo mu kunoonyereza wamu n’okukwata abateeberezebwa okwenyigira mu kutta Bamaseeka mu bitundu bya Busoga wamu n’okuzuula mmotoka eyeeyambisibwa mu kutta omugagga w’omu Kampala Eria Bugembe Ssebunya eyali amanyiddwa nga Kasiwukira.

Kw’ono baakwatiddeko n’abalala okuli: IP Mpamizo ng’ono Gen. Kale Kayihura y’omu ku baserikale be yalonda okuddamu okwekenneenya fayiro z’emisango ezikwatiddwa obubi ku poliisi ez’enjawulo. Mpamizo yali akolera ki kitebe kya SIU (Special Investigations Unit) e Kireka.

Mu baakwatiddwa mulimu ne Faisal Katende, aludde ng’akolera mu Flying Squad.

Faizal Katende yaliko mu kagugulano ne Mohammed Kirumira era ekiseera ekyo, omugenzi Kaweesi yavaayo n’ategeeza nti Katende si wa poliisi wabula bamutunuulira nga wa SPC (Special Police Constable).

Oluvannyuma nga Kaweesi atwaliddwa mu ofiisi ekola ku by’okutendeka abapoliisi, yalagira Katende n’aba Flying Squad abalala okugenda mu kutendekebwa.

Wadde emisango aba CMI gye bavunaana abapoliisi be baakutte teginnalambikibwa bulungi, ensonda zaategeezezza nti gyekuusa ku fayiro ezikwatiddwa obubi omuli n’ekwata ku batta Kaweesi.

Kaweesi yattibwa nga March 17, 2017 e Kulambiro era baamutta ne ddereeva we Geoffrey Mambewa n’omukuumi we Kenneth Erau.

Omukazi Christine Muhoza Mbabazi ye yattukizza ebya Kaweesi, abaserikale ba poliisi okwabadde n’omuduumizi wa Flying Squad Herbert Muhangi bwe baagenze okumununula okuva mu mikono gy’abaserikale ba ISO abalumiriza nti alina ky’amanyi ku batta Kaweesi.

Abaserikale mu bitongole byombi baafunye akagugulano ku maka g’omukazi e Lungujja mu Ssendawula Zooni era eggye erikuuma Pulezidenti (SFC) ne lisindikibwa ne libaggyawo bombi.

ABAAKWATIDDWA BAZIZE EMMERE

Abamu ku baakwatiddwa nga bakulemberwa Nixon Agasirwe nga tebannatwalibwa Makindye, baasoose kuzira mmere.

Ensonda mu CMI zaategeezezza nti Agasirwe yabadde amaze ennaku bbiri ng’agaanye okulya ng’agamba nti ayagala kusisinkana Pulezidenti Museveni.

Kigambibwa nti aba CMI ekiragiro ekikwata abapoliisi baakifunye okuva waggulu era okutandika okukissa mu nkola ng’omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura ky’aggye agende ebweru w’eggwanga ku mirimu emitongole.

Agasirwe yategeezezza abaamusibye nti bakolera ku bintu ebipangirire era nti okupanga kuno kukolebwa abamulinako ennugu olw’ebikwekweto by’azze akola ebimufudde ow’amaanyi mu poliisi.

Yanokoddeyo bwe yeenyigira mu kukwata Jamil Mukulu e Tanzania. Nti mu kukwata Mukulu, teyakimanya nti yali alinnya ggere mu luwombo lw’abanene abaateekanga ensimbi ennyingi mu mbalirira ya buli mwaka ey’okulwanyisa ADF n’okukwata Mukulu era ne batandika okumulwanyisa.

Omukungu wa poliisi omulala ayogerwako ye ACP Jonathan Baroza ng’ono yasindikibwa mu May 2017 okukola ku kitebe kya Uganda mu Algeria.

Ono abamu ku booluganda lwa Kaweesi baamwezingako nga bagamba nti ye yatuma abasajja abaakwatibwa nga bayoola omusaayi mu kifo we battira Kaweesi.

Baroza y’omu ku boofiisa abaasooka okutuuka mu kifo we battira Kaweesi era y’omu ku baawanga abaserikale ab’amadaala aga wansi ebiragiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...

Abasumba 220x290

Abasumba bye baatudde ne basalawo...

ABASUMBA abakulira abalokole mu Uganda batudde ne bateesa ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo. Olukiiko lwakubiriziddwa...

Dpp 220x290

Omuwaabi wa Gavt. awadde ebiragiro...

OMUWAABI wa Gavumenti omukulu Mike Chibita asiimye okunoonyereza okwakoleddwa ttiimu ya Vision Group omuli ne Bukedde...

Teddybugingoaloysius 220x290

Enkambi ya Teddy evuddeyo ku by'obugagga...

ENKAMBI ya mukyala wa Bugingo ow’empeta Teddy Naluswa Bugingo etangaazizza nti, Teddy takkaanyangako kugabana byabugagga...