TOP

Engeri amagye gye gaaluse olukwe okubakwata b'ofiisa ba Poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 29th October 2017

OMUJAASI wa Miritale poliisi eyaliwo nga boofiisa ba poliisi mwenda abaasimbiddwa mu kkooti y’amagye nga bakwatibwa annyonnyodde engeri amagye gye gaabazingako omulundi gumu ng’enseenene nga tebasobola yadde okwerwanako.

Sharp 703x422

Abaserikale bano nga batuusibwa ku kkooti y'amagye e Makindye.

Yagambye nti, ekitongole ky’amagye ekikessi ekya 'Chieftaincy of Military Intelligence' (CMI) kyasooka kuteeka kazito ku mumyuka w’omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Okoth Ochola ne bamulagira okuwaayo abaserikale be mu mirembe.

Bino baabiyisa mu bbaluwa gye baamuwandiikira wiiki ewedde ne bamuwa n’ekiseera ky'alina okuewerayo abaserikale abaali beetagibwa era ebyali mu bbaluwa bwe yalaba bimuzitooweredde kwe kuyita basajja be.

Yabayita bulungi ng’alina omulimu gw’agenda okubawa era ku Lwokutaano nga October 20, bonna baakeera mu ofiisi ye ku kitebe kya poliisi e Naggulu okumanya ekibayisizza.

Mu kiseera kino, abaserikale ba Miritale n’abajaasi ba CMI, baali baamaze dda okubabuulira eky’okukola.

Abaserikale bano baali bayitiddwa era nga baweereddwa n’obudde bwe balina okutuukiramu ku ofiisi ya Ochola. Baatuuka musoolesoole wabula nga buli omu bw'abuuza munne ekibayisizza nga tewali akinnyonnyola.

Mu kiseera kino, abajaasi ba Miritale n’aba CMI baakola obugumiikiriza ne batapapa era olwalaba nga baling abaweddeyo, Ochola n’abatuuza n’abagamba nti, ‘ensonga ebayisizza wano, waliwo aba CMI balina bye baagala okubayambako.’

Yabalagira abalina emmundu okuziwayo n’abalagira bagoberere abaserikale ba CMI mu ddembe.

Kino kyakolebwa obutasasamaza poliisi. Baasooka kubayisa mu bintu ebyangu nga batuuse ku CMI e Mbuya era ne babalagira okuddayo mu maka gaabwe baddeyo enkeera ku Lwomukaaga ne bakola ekintu kye kimu ne ku Ssande ne bakola kye kimu wabula bwe baddayo ku Mmande, tebaabakkiriza kuddayo era ne babakwata.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Asan Kasingye yategeezezza nti, baabawandiikira mu butongole nga babategeeza nti, waliwo abaserikale be baali beetaaga okubaako bye bababuuza.

BAAKUKWATA ABALALA

Okusinziira ku nsonda mu CMI, emisango egivunaanibwa abaserikale bano mingi wadde nga basoose kubavunaana gwa kuwamba muntu Lt. Joel Mutabaazi eyali mu ggye erikuuma Pulezidenti wa Rwanda waliwo emirala egiri ku fayiro yaabwe.

Ensonda zaagasseeko nti, waliwo emisango okuli okukola obuduukulu obutali mu mateeka mwe batulugunyiza abantu (kino abantu bangi abazze bakirumiriza Nixon), okubega eggwanga amawulire ne bagawa amawanga amalala (Espionage), n’okubbisa emmundu n’obutemu.

“Emisango mingi era y’ensonga lwaki fayiro tezaaweereddwaayo mu kkooti okunoonyereza kukyagenda mu maaso emisango emirala gigenda kugattibwako mpolampola ate waliwo n’abantu abalala abatannakwatibwa be bakyanoonya.”

Ensonda bwe zaategeezezza. Zaagasseeko nti, n’abasibe abasatu abaagaanyi okutwalibwa e Luzira ne bazzibwa e Makindye mu bbalakisi, bakyalina bingi eby’okubabuuza kubanga kati be baliwo okwongera okuyabako mu kunoonyereza abaasindikiddwa e Luzira tebakyabalinako buyinza.

Ku Lwokutaano, abaserikale ba poliisi mwenda okuli; SCP Joel Aguma, SSP Nixon Agasirwe, D/ASP James Magada, AIP Benon Atwigire, Sgt. Abbey Tumukunde, SPC Faisal Katende, CPL. Amon Walisiima, Remy Rutangira munnansi wa Rwanda ne Bahati Mugingo munnansi wa Congo baasimbiddwa mu maaso ga kkooti y’amagye ekulirwa Lt. Gen. Andrew Gutti.

Abasatu baagaanye okubatwala e Luzira mukaaga nabo baabadde basabye basindikibwe e Kigo wabula Gutti n’agaana n’abasindika e Luzira okutuusa nga November 20.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ket1 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze butto wa ovakkeddo gy'ayinza okutasaamu asiriiza entamu ssaako okufuukuuka...

Gwa 220x290

Anoonya omuvubuka ali siriyaasi...

OMWAKA nga gutandika abaana abawala bangi basazeewo okukkakkana era bangi bayigga bavubuka batuufu. Ku bawala 10...

Noonya 220x290

Nnoonya omwami ananjagala n’omwana...

Njagala omwami alina empisa, eyazimba nga mwetegefu okunfunira omulimu n’okugenda ewaffe n’okunjagala n’omwana...

Teba 220x290

Esther weebale kumponya laavu y’abayaaye...

NZE Henry Ssekabo, 26 nkola gwa busuubuzi nga mbeera Kawempe mu muluka gwa Bwaise II, Tebuyoleka Zooni.

Spice 220x290

Maneja Roger ye yamponya okudda...

NG’EBULA ennaku mbale okutuuka ku konsati ya Spice Diana etuumiddwa ‘Spice Diana live concert’ egenda okubeera...