TOP

Museveni asiimye bannaddiini

By Musasi wa Bukedde

Added 29th October 2017

ESSAZA ekkulu ery’e Kampala lijaguzza okuweza emyaka 50, ku mukolo Pulezidenti Museveni kw’asinzidde okusiima bannaddiini olw’okussaawo akakiiko akabagatta ne baggyawo enkola enkadde eyaleetanga enjawukana n’obusosoze obwatuukanga n’okuyingira mu by’obufuzi.

Bza 703x422

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku Kalidinaali okuva e Vatican , H.E. Ferdinando Filoni, eyeetisse obubaka bwa Paapa obuyozaayoza ekkulu ery’e Kampala erijaguzza okuweza emyaka 50. EKIF: JULIET NALUKWAGO

Museveni era agambye  nti  gavumenti  egenda kwongera okuwa Klezia n’Ekkanisa ya Uganda ssente okwongera okukulaakulanya ekifo ky’ebiggwa by’abajulizi e Namugongo kuba tebikoma ku kuyamba mu bya ddiini byokka wabula n’eby’obulambuzi.

‘’Buli June 3 (lunaku lw’abajulizi) bwe nzijja wano mpulira bubi okulaba enkuyanja y’abantu ejja wano kyokka nga tewali bikozesebwa bimala. Tujja kwongera okuwaayo ssente okukuza Namugongo,’’ Museveni bw’agambye.

Abadde ku mukolo esazza ekkulu ery’e Kampala kwe lijagulizza okuweza emyaka 50 bukyanga litandikibwawo ogwetabiddwaako Kalidinaali okuva e Vatican , H.E. Ferdinando Filoni, Ssabasumba w’essaza ekkulu e Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga, abasumba ba Eklezia ne Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga. Gubadde ku kiggwa ky’abajjulizi  e Namugongo.

Museveni Ategeezezza nti amaddiini okuva edda gaali geenyigidde mu bikolwa by’okusosolagana nga gatuuka n’okuwagira ebimu ku bibiina by’obufuzi nti kyokka ekirungi kati embeera yakyuka ng’amaddiini gonna gali wamu nga galina n’akakiiko akagagatta aka ‘’Inter Religious Council’.

Akunze bannaddiini okulwanyisa obwavu n’agamba nti basaanye okukoppa enkola ng’eya gavumenti ey’okweyambisa ‘emiruka’ okubulwanyisa.

Museveni agambye nti Uganda erimu abajulizi bangi abaawayo obulamu bwabwe okutereeza eggwanga mu by’eddiini n’ebyobufuzi.

‘’Nga June 3 tukuza olunaku lw’abajulizi ab’eddiini ate June 9 ne tukuza olw’abebyobufuzi,’’.

Agambye nti gavumenti yawa Klezia ssente z’okukulaakulanya ekifo kino ng’ezimu zaali zaakusasulira ttaka gavumenti ly’ekozesa eririraanye ekisaawe e Ntebe.

Ye Dr. Cyprian Kizito Lwanga  yeebazizza Pulezidenti olw’obuyambi obuzze buweebwayo okuyamba Klezia naddala okukuza Namugongo.

Agambye nti Klezia esabira eggwanga okubaawo mirembe  n’okulaba ng’ebisalibwawo mu by’obufuzi biyamba okukuuma famire n’okulwanyisa empisa embi.

Ayongeddeko nti Klezia egenda kuzimba ekifo ekikuumirwamu eby’edda ekigenda okuyamba abantu okumanya ebyaliwo bukyanga ddiini ejja mu Uganda nga kyakutuumibwa ‘’ Muteesa 1  Catholic Museum’’.

N'asaba gavumenti okussa mu bajeti ssente z’okulabirira abatalina mwasirizi okugeza abalema, abakadde n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...