TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Palamenti eragidde gav't ku by'okutwala abantu ku kyeyo

Palamenti eragidde gav't ku by'okutwala abantu ku kyeyo

By Muwanga Kakooza

Added 2nd November 2017

ABABAKA ku kakiiko ka Palamenti ak’eddembe ly’obuntu bagambye gavumenti okubaga etteeka erigenda okulung’amya eby’okutwala Bannayuganda ku kyeyo kitangire ebikolwa by’okutulugunyizibwa ebituusibwa ku bamu nga bagenze mu mawanga g’ebweru.

11377219101534664366287837255647547415653392n 703x422

Ababaka era basabye poliisi ya Uganda okukolagana n’ey’ensi yonna (Interpol) okulondoola Bannayuganda abalina okwemulugunya nti batulugunyizibwa nga batwaliddwa ku kyeyo naddala abo abagenda okukola emirimu gy’awaka.

Bino biri mu lipooti y’akakiiko kano eri  Palamenti  ng’ekwata ku kunoonyereza ababaka kwe baakoze lipooti eya buli mwaka ey’omulundi ogwa 18  eyafulumiziddwa akakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu mu ggwanga aka ‘Uganda Human Rights Commission’.

Basabye Gavumenti okuwa obuyambi bw’amateeka eri Bannayuganda abali ebweru abeetaaga okuyambibwa nga batulugunyizibwa. Era ne bagisaba okusomesa Bannayuganda abagenda ku kyeyo engeri gye balina okukolamu emirimu n’okwetangira obutabatulugunya.

Kigambibwa nti Bannayuganda abamu bava kuno nga basuubiziddwa emirimu n’emisaala emisava kyokka bwe batuuka gye bagenze nga baggyibwako paasipooti olumu nga basindikibwa kukola mirimu gya waka gye bataagenderera ne balyoka batulugunyizibwa n’okutuntuzibwa Abawarabu.

Ababaka basabye poliisi okwongera amaanyi mu kusomesa abantu ba bulijjo enkola y’emirimu gyayo kibayambe okugwa mu butego bw’amateeka n’okwongera okulongoosa ekifananyi abantu kye bagirinako.

Basabye aba poliisi abatulugunya abantu bavunaanibwe ssekinnoomu kuba etteeka weeriri. Ababaka era baasabye Gavumenti okussaamu amaanyi ag’enjawulo okulabirira abajaasi abafuna obuvune nga bali ku mirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gav't eyimirizza okugabira abantu...

Gav't eyimirizza okugabira abantu emmere egambibwa okutabula Bannayuganda emitwe

Reb2 220x290

Abatuuze bazudde ebitundu by'omwana...

Abatuuze bazudde ebitundu by'omwana eyasaddaakibwa

Gamba 220x290

Paapa alonze omusumba w'e Soroti...

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti omuggya. Polof. Ono abadde aweerereza...

Img20171208wa0060335186 220x290

Abasawo beemulugunyizza ku kulwawo...

ABASAWO abeegattira mu kibiina kya ‘‘Uganda Medical Association (UMA)’’, beemulugunyizza ku kya gavumenti okulwawo...

Webbetikyamyanewtdy 220x290

Abatembeeyi babakkirizza okukolera...

Abatembeeyi minisita baayogerako be batambula nga balejjesa ebintu so ssi abayiwa ebyamaguzi ku mbalaza ne ku mabbali...