TOP

Gashumba bamunoonyerezaako ku kubega ebyama bya Gavt.

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd November 2017

ENSONGA za Gashumba zongedde okukaluba, bwe batandise okumunoonyerezaako ku bigambibwa nti yeenyigira mu kubega ebyama bya Uganda ng’abiwa eggwanga eddala ery’oku muliraano.

Gashu 703x422

bega ba poliisi nga baaza amaka ga Gashumba agasangibwa e Bbunga omwaka oguwedde.

Mu kunoonyereza kuno, abaserikale bazzeeyo mu maka ga Frank Gashumba e Bbunga mu Kampala okwongera okufuuza ebiwandiiko n’obujulizi obulala bwonna obulina akakwate ku musango gw’okubegera eggwanga eddala ogumanyiddwa nga “Espionage”.

Bye baggyeeyo tebyategeerekese wabula ensonda mu magye zaategeezezza nti baafuuzizza nnyo ebiwandiiko.

Mu kwaza okw’omulundi ogwokubiri, amagye gaabadde gakolaganira wamu ne bambega ba poliisi. Kigambibwa nti mu kukunya Gashumba, bamubuuza nnyo ku kakwate n’eggwanga eddala ery’oku muliraano wamu n’ebigambibwa nti alina enkolagana ey’enjawulo n’abakulembeze mu ggwanga eryo era alina emirimu egitali mu mateeka gy’abakolera ate nga gikosa Uganda.

Gashumba yakwatiddwa ne muganda we, Innocent Kasumba (olumu yeeyita Simon Mutabaazi).

Baakwatiddwa amagye era ekitongole ky’amagye ekikessi ekya CMI (Chieftaincy of Military Intelligence) kyesigamye ku bujulizi obulaga nti balina yinvesita gwe baabadde bagezaako okufera nga Gashumba yeefudde omukungu mu kitongole ky’ebyokwerinda.

Nga tebannakwatibwa, nti baasoose kusisinkana yinvesita ku Golden Tulip Hotel e Nakasero era ne bamumatiza nti kkampuni yaabwe eya Flagship Group balina kontulakiti n’eggye lya UPDF okubaguza ebyokulwanyisa n’ebimotoka eby’entalo nga ddiiru yonna yabadde ya bukadde bwa ddoola 120 (eza Uganda obuwumbi 430).

Mu kwaza amaka ge ne ofiisi ebyasoose okukolebwa, baazudde paasipooti bbiri Gashumba z’alina kyokka nga ziriko amannya ag’enjawulo; emu eriko Frank Ssenyondo ate endala eriko Gashumba Franco Malingumu.

Baasanzeeyo ne sitampu enjingirire 20 okuli n’eya Minisitule y’ebyokwerinda.

Lt. Col. Deo Akiiki mu kwogera ku Lwokubiri ng’alaga Gashumba eri bannamawulire, yagambye nti omusibe waakutwalibwa mu kkooti kyokka n’awunzika ng’alaga nti eky’okumutwala mu kkooti y’amagye kisoboka kuba yakwatiddwa n’ebintu by’ekitongole ky’ebyokwerinda by’atalina kubeera nabyo.

Omusango gw’okubegera eggwanga eddala gwe banoonyerezaako gukanze aba famire ya Gashumba kuba gwa nnaggomola era ebibonerezo byagwo bikakali.

Omusango guno gugwa mu ttuluba lye limu n’okulya mu nsi olukwe (Treason) era ekibonerezo ekisembayo kya kuwanikibwa ku kalabba oba okusibwa amayisa! Waliwo okutya mu ba famire nti guno gwe bayinza okukozesa okuvunaanira Gashumba mu kkooti y’amagye.

Eyali omubaka wa Munisipaali y’e Nansana, Wakayima Musoke Nsereko era nga waaluganda lwa Gashumba yategeezezza nti bawakanya enteekateeka yonna ey’okuvunaanira Gashumba mu kkooti y’amagye era n’alabula nti kino bwe kinaakolebwa, kkooti y’amagye egenda kuba yeemazeemu ekitiibwa okutandika okuwozesa abantu baabulijjo ku busango obutonotono.

Yagambye nti baategeezeddwa ne ku ky’okuvunaana Gashumba emisango gy’okubeera mbega w’eggwanga eddala, kyokka era nakyo beetegefu okukiwakanya nga bayita mu bannamateeka baabwe.

Geoffrey Nsamba omu ku balooya ba Gashumba yagambye nti bakola ekisoboka okuggya Gashumba mu kaduukulu era kye baavudde basalawo okutwala okusaba mu kkooti e Nakawa mu maaso g’omulamuzi Jacqueline Kagoya nga baagala Gashumba ne muganda we bayimbulwe awatali kakwakkulizo konna.

Nsamba yagambye nti yali ne Gashumba lwe baamukwata nti wabula amagye tegaayogera ku bya musango gwa kubega byama bya Uganda era balinze emisango gyonna eginaaba gimuteekeddwaako battunke nagyo.

Yagasseeko nti omuntu waabwe azunzibwa nnyo ng’olumu bamuggya e Kireka ne bamuzza ku CMI e Mbuya ate ne babaako bye bamubuuza ebirala, kw’ossa okumutwala mu bifo eby’enjawulo okwaza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit1 220x290

Abagambibwa okutta Bayinvesita...

Abagambibwa okutta Bayinvesita bakwatiddwa abalala babataddeko obukadde 10

Kam2 220x290

Abagambibwa okusanga akawanga ka...

Abagambibwa okusanga akawanga ka maama waabwe mu ssabo beebazizza Museveni okubayamba

Tip2 220x290

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana...

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana we

Tot1 220x290

Vision Group etandise enteekateeka...

Vision Group etandise enteekateeka y'ekivvulu kya Toto

Jose11 220x290

Abaggyeemu obwesige

ManU, eri bubi nga mu Premier eri mu kifo kyamunaana nga Man City ekulembedde ebasinza obubonero 12.