TOP

Balooya ba Gashumba bakonkomalidde ku kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 4th November 2017

BALOOYA ba Gashumba eggulo baakedde ku kkooti y’amagye e Makindye nga basuubira nti omuntu waabwe ayinza okutwalibwayo nga tebategedde.

Frankgashumbaww 703x422

Frank Gashumba

Nga bakulembeddwa Geoffrey Nsamba, balooya wano baamazeewo essaawa nga bbiri nga kkooti teggulwa ne batandika okukuba amasimu.

Awo we baabategeerezza nti Gashumba baabadde tebamusuubira mu kkooti y’amagye, era awo balooya kwe kuva e Makindye ne boolekera kkooti y’e Nakawa.

Waabaddewo okukoonagana ku kiki ekiddako ku Gashumba eyaggalirwa ne muganda we Innocent Kasumba (olumu yeeyita Simon Mutabazi).

Kaweefube balooya gwe baabadde bakoze okukakasa nti Gashumba aleetebwa mu kkooti ku Lwokutaano aleme kumala wiikendi ng’ali mu kaduukulu baabadde bamusuubiramu ebibala, kyokka nga tebeekakasa kkooti ki mw’ayinza kutwalibwa.

Balooya baasazeewo beeyawulemu ebibinja era ekimu ekyabadde kikulemberwa Dennis Nyombi ne kigenda e Nakawa ate olwo ekya Nsamba ne kigenda ku kkooti ya Buganda Road.

E Nakawa baabadde basabye omulamuzi Jacqueline Kagoya ayise ekiragiro ekiwalirize amagye ne poliisi okumuyimbula awatali kakwakkulizo konna.

Nyombi yategeezezza nti, ekisinze okubatabula, ebitongole by’ebyokwerinda okuli Joint Ant-Terrorism Task Force (JATT), CMI ne poliisi, biringa ebikyalina okusika omuguwa ku muntu waabwe.

Ensonda zaategeezezza nti ebitongole byonna bisatu, buli kimu kirina ensonga ey’enjawulo gye kyagaza Gashumba.

Poliisi emisango gy’emwagaza yamaze okugirambika okuli okweyita ky’atali n’okujingirira ebiwandiiko ne sitampu wabula ate JATT ne CMI kigambibwa nti bakyamulinako ensonga ze bamunoonyerezaako omuli n’ey’okubega ebyama bya gavumenti ng’abiwa eggwanga eddala ery’oku muliraano.

Nyombi yagambye nti, wadde poliisi yabadde ebategeezezza nti amagye gaabakwasizza Gashumba era ali Kireka ate balooya bano bwe baagenze e Kireka ku Special Investigations Division (SID) ku Lwokuna ne babagaana okubalaba ne babalagira baddeyo ku CMI e Mbuya gye baba bafuna olukusa kye bagamba nti amagye galabika ge gakyasalawo ekiddako ku Gashumba.

Wabula omwogezi w’amagye, Brig. Richard Karemire yagambye nti, bbo tebakyalina kye beetaaza Gashumba era bye baabadde bamwetaaza byawedde ne bamukwasa poliisi n’agattako nti poliisi bw’eba yagaanyi balooya be okumulaba erina nsonga zaayo.

Nyombi ng’ali ne balooya abalala okuli Isaac Ssemakadde, baategeezezza nti, baatudde n’abaserikale ba CMI ne babasaba baweeyo Gashumba mu mikono gya poliisi omusango gugende mu kkooti kubanga amaze ebbanga ddene ng’aggaliddwa wabula we zaaweredde essaawa 8:00 ku Lwokutaano nga kino tebannalaba bwe kituukirira.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Asan Kasingye yategeezezza nti, ku ssaawa eno, Gashumba ali mu mikono gya poliisi era CMI ne JATT tebakyalina kye bategeka okumutwala mu kkooti akadde konna.

Yagambye nti bwe wabeerawo omuserikale eyalemesezza balooya okulaba Gashumba yakikoze ku lulwe ng’omuntu.

Balooya baafunye essuubi ery’obutatwala Gashumba mu kkooti y’amagye bwe baategeezeddwa nti agikulira Lt. Gen. Andrew Gutti ali bweru wa ggwanga era waakumalayo wiiki bbiri ate nga bw’aba taliiwo, kizibu kkooti okutuula.

Gashumba yakwatibwa bwe yali agenze ku kitebe kya CMI e Mbuya okununula muganda we Mutabazi eyali asoose okukwatibwa.

Yakwatibwa ku misango gy’okugezaako okufera yinvesita ng’amulimbye nti baali bafunye kkontulakiti nga bayita mu kkampuni ya Flagship Group okufunira amagye ebimotoka.

Kino, baakikola nga beefudde abakungu ba minisitule y’ebyokwerinda era baali bagenda kugikutulira ku Golden Tulip Hotel e Nakasero wabula aba JATT ne babagwamu nga ddiiru tennakutuka ne bakwata Nasser Mukungu ne Mutabazi.

Abaserikale mu kwaza ofiisi ya Gashumba ku Lwokubiri baalaze ebintu bye baggyeeyo omuli paasipooti bbiri Gashumba z’agambibwa nti z’abadde akozesa nga ziri mu mannya ga njawulo; sitampu za minisitule ey’eby’obulimi n’eyebyokwerinda, sitampu ya Stanbic bank n’ebitongole ebirala, enjaga ey’obuwunga gye banuusa, ey’ebikoola gye bateeka mu misokota n’endala eyali mu bucupa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga