TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • ‘Nawasa ffembi tuli mbeerera naye ne tufuna akawuka; Mukama namusaba emyaka 5 kati ndi mu 25'

‘Nawasa ffembi tuli mbeerera naye ne tufuna akawuka; Mukama namusaba emyaka 5 kati ndi mu 25'

By Ruth Nazziwa

Added 4th November 2017

Okutuusa essaawa ya leero, simanyi gye naggya kawuka ka siriimu kubanga ne mukyala wange bwe yafa mu 1993 buli omu yali asonga mu munne.

Pa 703x422

Dr. Watiti n’ekitabo kye yawandiika ekirimu ebibuuzo 100 ebikwata ku siriimu.

Mu mutima gwange ndowooza nti bwe mba nga nze nakamusiiga, nakaggya ku bya mulimu, kubanga sibeerangako na mukyala yenna atali mukyala wange ng’okumuwasa ffembi twali tetwegattangako.

Naye obukugu na byonna bye mmanyi mu kujjanjaba siriimu essaawa eno ssinga nabirina luli, mukyala wange teyandifudde,” Dr. Stephen Watiti bw’atandika emboozi ye ku siriimu ne by’ayiseemu mu myaka egisoba mu 30.

Dr. Stephen Watiti, 64, mukugu mu kujjanjaba obulwadde bwa siriimu mu ddwaaliro lya Mildmay.

Annyonnyola nti, akawuka yakafuna akyali muvubuka wakati wa 1985 ne 86 ng’amaze nako emyaka egisoba mu 30.

Anyumya bwati:

“Nsuubira akawuka nakafuna 1986 nga nnaakawasa, mu biseera ebyo, obufumbo bwaffe twali twakabumalamu emyezi mukaaga nga ne mukyala wange ali lubuto, hhenda okwetegereza nga nnina obuzimba mu bulago naye nga tebunnuma.

Mukwano gwange olwandaba n’ahhamba nti abantu b’alaba ababulina batera okuba nga balina akawuka ka siriimu ekyampaliriza okwekebeza naye natya okuddayo okufuna ebyavaamu.

Oluvannyuma, bankebera obuzimba nga sirina kookolo, bannongoosa obuzimba ne babuggyamu era ne bampa amagezi nneekebeze siriimu ne bakizuula nga nnina akawuka. Saalina kinnuma okuggyako okunafuwa.

Mu 1988, akafuba kankwata ne bahhamba nti nakaggya ku balwadde ne nzijanjabwa ne mpona. Nga nkyali awo, Mu 1990 nafuna embaluka naye ng’era tekinzigira mu bwongo nti bijja lwakuba nnina akawuka.

Oluvannyuma mukyala wange yafuna olubuto olw’omwana owookusatu mu 1993 nga simanyi nti lwe lugenda okumutwala.

Yatandika okulwalalwala nga ndowooza nti anaatereera. Obulwadde bwanyiinyittira ne bamuwa ekitanda e Lubaga era omwana n’avaamu nga tannatuuka n’afa.

Nalowooza nti omwana k’avuddemu, osanga mukyala wange anaaterera ekitaasoboka kuba yafa nga 7/ January 1994.

Mu 1994, naddamu okwekebeza era lwe nakikakasa nti nnina akawuka ka siriimu. Bingi ebyayogerwa okuva ku njuyi zombi.

Eky’obulabe ffembi tetwali ku ddagala lyonna naye nze Mukama namusabayo emyaka etaano mu maaso gyokka nsobole okusomesa muwala wange asobole okusuumukamu nga bwe mmuteekateeka ku ngeri gy’anaabeerawo oluvannyuma lw’okufiirwa abazadde bombi anti nga nange nkimanyi essaawa yonna luntwala

Ngwa ku ndiri

Mu 2000 gwe mwaka amagombe lwe geggula, era simanyi bbanga lye namala nga sitegeera kiri ku nsi.

Olumbe lwankuba wansi ne bantwala mu ddwaaliro nga biwalattaka. Omutwe gwannuma n’omusujja nga sikyasobola na kutunula. Bwe bantuusa mu ddwaaliro, baagenda okunkebera nga nnina endwadde zonna ezitta omuntu alina akawuka ka siriimu.

Nalina omusujja gwa mulalama, obuwuka nga bungi nnyo mu musaayi nga gulimu n’amasira, nga nnina akafuba era ng’amawuggwe gange galimu ebituli nga nkolola musaayi nga guno gwali mulundi gwakuna ng’akafuba kannumba.

Nnali sissa bulunginga nnina ne kookolo w’olususu, nali namera emitunsi ku mumwa waggulu ne mu kamwa, nnali mukovvu nnyo era nga nsigazza kkiro 45 zokka.

Nnamalako ennaku ssatu nga sikyafuluma kintu kyonna wadde omusulo, ku biggya ne batandika okulongoosa nga bamanyi essaawa yonna hhenda.

Nalaba sirina we mponera, ne mpita bazadde bange ne famire yange ne mbagamba bye nali njagala naddala okulabirira muwala wange, naye Mukama yali wamu nange kubanga abasawo e Mulago n’abamu ku mikwano gyange banzijanjaba ennaku ne zifuuka wiiki, wiiki ne zifuuka myezi hhenda okulaba nga ndi mu mwaka kati mbala myaka na myaka.

Ntandika ku ARV’s mu 2000 Mukwano ngwange Dr. Moses Kamya yali ava e Durban mu lukuhhaana lwa HIV/AIDS mu 2000, n’andeetera ARV’s ne ntandika okumira okumala emyezi esatu naye nga simanyi na gye hhenda kuggya ssente zigula ddoozi gye nnina kuzzaako.

Oluvannyuma lw’okulimira, natereeramu era bagenda okunkebera abaserikale b’omubiri gwange balinnye n’obuwuka bukendedde mu musaayi.

Nali sikyakola ebiseera ebyo nga sirina ssente za ddagala naye Mukama mulungi kuba bwe lyaggwaawo, mikwano gyange bansondera ne ntandika okuligula nga ddoozi emalawo doola 500 (ze za Uganda 700,000/- mu biseera ebyo).

bwe namiranga ARV ne nsesema nga nzooza ne nzimira buto Olw’okuba nalina ebinnuma bingi, namiranga eddagala lingi ng’oliteeka ku ssoosi n’ejjula nga ndimira ng’alya ebinyeebwa.

Naye olw’obukambwe bwalyo ate nga mmira empeke nga 20, ng’oluusi ndisesema ate nga lya ssente nnyingi. Kye nakolanga kwe kutega ebbaafu nga bwe lidda, nga ndyoza ne nziramu ne ndimira ddoozi ereme kufa era Mukama mulungi okulaba nga bino byonna nabiyitamu.

Oluusi nga nnina okulimira mu ttumbi ate nga nnina kumala kulya era nga nzuukuka ne ndimira kuba nakimanya nti lye lirina okutaasa obulamu bwange.

Eddagala lyatuuka ekiseera nga terikyankolera bulungi ne ntandika okulwala kubanga nalina eddagala lingi ery’okumira ate ng’oluusi sirina ssente zigula ddoozi eddako nga liweddewo era nalimalako emyaka esatu ne bankyusiza mu 2003.

Mu kiseera kino ndi ku ddagala ery’omutendera ogwokubiri era nga ndi mulamu. Buli kimu nga kitandise okukomawo mu bulamu bwange, nasalawo okuddamu okuwasa era ku Lwokutaano 5/August/ 2005, lwe lunaku Mukama lwe yanzijuza essanyu bwe yamponya obw’omu.

Okwatula kye ndi kinnyambye okwanguyirwa obulamu

1 Navaayo mu lwatu ne mbuulira abantu naddala abanninaanye n’eggwanga lyonna nti nnina akawuka. Kyanzigyamu okutya n’obutasongebwamu mimwa ate sikukuta nga mmira eddagala lyange.

2 Siyinza kwosa wadde okusobya obudde bwe nnina okumiriramu eddagala. Mu ddwaaliro nditeeka ku mmeeza era ndimira mu budde n’abalwadde ne bandabirako.

3 Omuyambi wange awaka namubuulira ku bulwadde bwange era ne mmusaba okuzuukuka mu ttumbi antegekere ekyokulya n’okunzijukiza buli kiro ne ku makya okumira eddagala n’akkiriza.

4 Wadde nga ndi musawo, sejjanjaba, nange nnina abasawo abandabirira era buli luvannyuma lwa myezi esatu ng'enda ne bankebera. Ate buli luvannyuma lwa myezi mukaaga bankebera omusaayi okumanya obungi bw’akawuka bwe nnina mu musaayi, ekibumba kirungi, sirina masavu n’ebirala ne bannuh− hamya.

5 Sirya mmere ya masavu, sinywa bitamiiza wadde ssigala. Wabula ndya emmere yonna esigadde naye nga nsinga kwagala byennyanja ne kawo nga bino buli wiiki mbiryako.

6 Bwe mbeera awaka, ntambulako mu nnimiro yange n’okulima ku Lwomukaaga okukuuma omubiri nga gukola bulungi.

Nkubiriza abalina akawuka ka siriimu n’abakosebwa obulwadde buno, abafiiriddwa abaagalwa baabwe olwa siriimu, nti omuntu bw’afuna akawuka ka siriimu tekitegeeza kufa.

Nkubiriza buli omu okweyambisa obumanyi bw’alina, ku bikwata kukawuka ka siriimu okulaba nga teri bantu bapya baddamu kufuna kawuka.

Ekirala tukomye okusosola oba okusongamu emimwa ababulina. Nkakasa nti tusobola okufuna omugigi omutali balina kawuka ka siriimu,” Dr. Watiti bw’amaliriza.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu