TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abaali bamalaaya ne babuvaamu boogedde: 'Omusajja yantwala ewuwe n'andagira okunaaza omulambo'

Abaali bamalaaya ne babuvaamu boogedde: 'Omusajja yantwala ewuwe n'andagira okunaaza omulambo'

By Vivien Nakitende

Added 5th November 2017

Bangi bwe balowooza ku basajja abagula bamalaaya balowooza nti babagula kwesanyusa naye okimanyi nti waliwo ababagula okubakolerako ebyawongo n’okubakozesa emirimu egy’entiisa bo ababaguze gye batasobola kukola? Baabano balojja eby’entiisa abasajja bye baabakozesa ebyabagoba mu bwamalaaya:

Yamba 703x422

Teopista Nakiwu

Omusajja yankuba kalifoomu okudda engulu nga ndi mu kasenge omuli omulambo

Teopista Nakiwu 27, anyumya nti: Nayingira obwamalaaya mu 2008, oluvannyuma lw’omusajja eyanfunyisa olubuto okunneegaana n’awaka ne bangoba.

Nagenda mu kibuga ne nnoonyereza ku bamalaaya we bakolera ne wooteeri gye batwala bakasitooma baabwe ne ntandikira awo.

Abasajja abatugula bangi babeerako ebizibu byabwe bye baagala okutumalirako, abamu bajja balina endwadde enzibu ng’abakazi b’awaka bagaanye okwegatta nabo naayagala azimalire ku ffe abatunda akaboozi.

Batukozesa ebikolobero bingi. Waliwo omusajja eyangula n’ansaba tugende twesanyusize ewuwe naye olwatuuka mu mmotoka ye n’ankuba kalifoomu.

Bwe nadda engulu yannyingiza mu kasenge akamu wakati mu kuntiisatiisa okungi nti nnina okugondera ebiragiro bye. Mu kasenge mwalimu omulambo gw’omukazi, nga baagukaza, yandagira ngunaaze bulungi, ngusanirire enviiri ate ngwambaze n’engoye.

Yansibiramu n’ahhamba nti bwe mba nkyayagala obulamu, nkole ky’ahhambye oba si ekyo nange nali waakufuuka ng’oyo ali mu kasenge (ng’ategeeza omulambo).

Naguma ne nnaaza omulambo era ne ngukolako bulungi nga bwe yali ansabye, ne ngusiiga ebintu bye yali ampadde, olwamala yaddamu n’ankuba kalifoomu n’ansuula mu kifo okumpi ne we yanzigya.

Waliwo omulala eyangulako mu kibuga emirundi egisukka mu esatu, naye olumu yajja n’ansaba tugende ewuwe nti gy’ayagala twesanyusize. Nakkiriza, ne tugenda, twasooka kunywa mwenge mu bbaala emu.

Bwe twatuuka mu mmotoka n’ankuba kalifoomu era awo we nakoma okutegeera, nagenda okudda engulu zaali ssaawa, nga mwenda ez’ekiro nga ndi mu malaalo mu kifo kye saategeera.

Amalaalo gano gaali geetooloddwa ebitooke ebirimu omuddo n’akasiko ebbali. Ssente ze twali tukkaanyizzaako yaziteeka mu kasawo kange era nazisangawo nga nzize engulu.

Nadduka emisinde okuva mu malaalo okutuuka ku kkubo eddeneko ne nsanga bodaboda ne ngigamba entwale we nsobola okulinnyira emmotoka era olwatuuka ne nninnya ezinkomyawo e Kampala.

Nagenda okwekebera nga ndiko emisale ku mubiri, era oyo olwamaliriza emikolo gye teyaddamu kudda mu kifo we nali nkolera.

Abamu balina endwadde zaabwe ez’ekikaba oli n’ajja ng’obusajja bwe bwonna bujjudde amabwa kyokka nga tayagala kukozesa kapiira era n’akukaka n’akusiiga ebirwadde byo, ate bangi bajja n’ebizibu byabwe ng’azze kukimalira mu ffe si kwagala. Abamu mutuuka eyo n’akwambula n’akukolako obusolosolo obutategeerekeka, n’amala n’agenda nga takukozesezza, nga kitegeeza waliwo kyakweyambululiddemu.

 kitebe kyekibiina kya Ekitebe ky’ekibiina kya WONETHA

 

BAKASI TOMA TEBAAGALA KUKOZESA BUPIIRA

Juliet Mugasa (si ge mannya ge amatuufu) agamba: Bakasitoma abatugula tebaagala kukozesa bupiira, ate ffe be bavuma nti twetunda ffe tudda munda ne tutandika okubabuulirira nti basaanye okubukozesa, bangi bwe batutuukako beeyisa nga nsolo ekintu ky’olaba ng’oli ddala tasobola kukikola ku mukyalawe ow’awaka, ggwe akikukola.

Obupiira babuyuza ne weesanga oli alina ekirwadde ng’azze kukikusiiga. Ssente ze tufuna ezisinga tuzimala mu kwejjanjabisa ndwadde ze batusiiga.

Omusajja olumu yansiiga ekirwadde ekyandyako akakadde kalamba nga nejjanjabisa, yagaana okukozesa akapiira n’ankwata ku mpaka, wabula obusajja bwe bwali buvaamu omusaayi.

Yansasula bulungi 30,000/- ze twali tulagaanye, naye nakeera ku makya nga nzenna mbutuse omubiri gwonna.

Nafuna 30,000/- kyokka nasaasaanya kakadde. Abaana bange bankyaye bonna Nnaalongo Mugenga (amannya ge amatuufu gasirikiddwa) agamba:

Nze omu ku bayambiddwa ekibiina kya WONETHA okuva mu bwamalaaya era ndaba kati nsobola okweyimirizaawo.

Nabuyingira emyaka 16 emabega oluvannyuma lwa baze okufa n’andekera abaana bataano, nabonaabona n’embeera ate abooluganda lwa baze ne banyaga ebintu by’omugenzi byonna. Mukwano gwange, gwe nasomako naye ng’abeera eno Kampala, yajjako mu kyalo n’alaba embeera gye ndimu n’andeeta e Kampala ng’ansuubizza omulimu omulungi.

Yantuusiza ku luguudo kwetunda. Napangisa akazigo e Nateete ne ndeeta abaana bange ne tubeera omwo nga bwe mbaweerera.

Nagulibwanga obuvubuka obuto ne bunkolako effujjo era okukkakkana nafuniramu akawuka ka siriimu kuba bangi baagaananga okukozesa obupiira ate abamu nga babuyuza.

Olumu Poliisi yankwata ne bannange ku luguudo kwe twali tukolera, ab’amawulire baaliwo ne babifulumya ku mikutu egy’enjawulo nga ndi mu kagoye akampi bankasuka ku kabangali ya poliisi omukazi omukulu.

Abaana bange baali bakuze ng’abamu bamazeeko emisomo gyabwe, era bwe baalaba bino bonna ne bankyawa kati emyaka kumpi ebiri banneegobako ndi nzekka.

Obwamalaaya nakungulamu bukyayi okuva mu baana bange mpozzi n’okufuniramu obulwadde bwa siriimu.

Abaana abataano abannyingizisa omulimu guno bonna bankyaye, mpulira ekyo nga kigenda kunzita, kuba ssinga si baana sandikoze mulimu guno.

Munnaffe yabuzibwawo kati mwaka taddangamu kulabika Omwaka oguwedde 2016, waliwo omusajja eyangula n’ankuba kalifoomu n’antwala mu maka agamu mu bitundu by’e Kansanga, nagenda okudda engulu nga ndi mu ddiirio nga ye mmuwulira ali mu kinaabiro anaaba, nawulira omuntu mu kisenge ekyali kiriraanye eddiiro ng’akema.

Nasalawo nningizeeko mu kisenge ekyo ndabe ekiriyo. Amaaso nagakuba ku mukazi eyali asibiddwa ku miguwa emikono gyombi n’amagulu, mu kutya okungi namubuuza ogubadde, yantegeeza nti nziruke mangu bwe mba njagala obulamu, n’ahhamba nti naye malaaya, wabula omusajja ono yamugula okuva ku kiraabu ya Dancers e Kibuye n’amuleeta awo, yambuulira amannya ge nti ye Shadia, abamu bamuyita Maama Sarah, n’ahhamba ntegeeze banne bwe bakolera mu kifo ekyo bamanyi omusajja oyo, bajja kujja bamuyambe.

Nadduka kiwalazima ne nfuluma ekikomera kino ne nfuna bodaboda eyannyongerayo, bwe natuuka ku Dancers ne mbategeeza, twekolamu omulimu ne tugenda ku poliisi y’e Kabalagala ne banoonya omusajja ono era n’akwatibwa.

Olw’okuba bantwala bankubye kalifoomu nange ekifo saakitegeera bulungi, naye ennyumba nali nsobola okugimanya naye nategeera nti waali Kansanga.

Omusajja ono yatwala poliisi ku nnyumba endala we yagamba nti we yali abeera ne bagyaza temuli kirimu, wadde nnali sikyajjukira bulungi kifo, naye ate ennyumba nali nsobola okugitegeera, era nalaba nti yatutwala ku nnyumba ndala etaali eri omwali musibiddwa Maama Sarah.

Poliisi y’e Kabalagala yasooka n’esiba omusajja ono naye yamala n’emuta nga tewali bujulizi bumulumika bwa nkukunala, nga balowooza twali twagala kumulyamu ssente olw’okuba twetunda.

Naye okuva olwo kati mwaka mulamba Shadia yabulira ddala tetuddangamu kumulabako era tuteebereza nti yattibwa.

Beekozeemu ekibiina okuggya bannaabwe mu bwamalaaya Abaaliko bamalaaya beekozeemu ekibiina ekibagatta nga bagenderera okulaba nga bayamba bannaabwe okuva mu bwamalaaya mwe bafunidde ebizibu enjolo.

Ekibiina kyabwe kiyitibwa Women Organization Network for Human Rights Advocacy (WONETHA ) n)ga kati kirimu bammemba abasoba mu 1000 okwetoloola eggwanga lyonna.

Diana Natukunda, Omwogezi w’ekibiina kino nga naye yaliko malaaya yagambye nti: Ekibiina kino kyatandikawo mu 2008.

 iana atukunda akulira bamalaaya Diana Natukunda, akulira bamalaaya

 

Twali twagala okufuna eddoboozi ery’awamu olw’ebizibu ebingi bamalaaya bye tuyitamu.

Ekibiina kino kiteerawo bamalaaya embeera ebasobozesa okubeera obulungi mu mbeera zonna, olwo bo ne balyoka basalawo okubuvaamu okusinziira ku bye baba batuuseeko.

Tukolagana n’abasawo n’amalwaliro ag’enjawulo, minisitule y’ebyobulamu n’ebitongole eby’enjawulo, era tubagabira obupiira bukalimpitawa ku bwereere n’okubasomesa engeri y’okubukozesaamu.

Bamalaaya bangi tubazzizzaayo mu masomero okusoma, abamu batandikira ddala wansi mu siniya eyookuna, abamu bazzeeyo okusoma satifikeeti, dipuloma ne diguli, nange wano nnaatera okumaliriza dipuloma yange. Tubawa n’okusoma okw’ekikulu ne bayiga okwogera Olungereza, okusoma obukodyo obw’enjawulo mu masomo nga: okukuuma ebitabo, ebya kompyuta, okuyiga okuluka n’okutunga n’ebirala.

Tulina ekiruubirirwa okutumbula ebyenfuna bya bamalaaya era tulina pulogulaamu y’ebyobulamu.

Tukubiriza bannaffe okulaba nga beekebeza akawuka ka siriimu bamanye bwe bayimiridde abalina bafune obujjanjabi ate oyo atalina ne tumukubiriza okwongera okunyweza okwekuuma.

Tulina emisomo egy’enjawulo, tukumaakuma bamalaaya abalina akawuka ne tubasomesa engeri y’okubeerawo obulungi naffe tugoberera ekigendererwa ky’ensi yonna ekya 90:90:90 okumalawo akawuka ka siriimu.

Ku Lwokubiri lwe nasisinkanye abakazi bano nnabasanze bali mu lukiiko ne bannaddiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo abataayagadde kubakuba bifaananyi era ne bangobera bweru.

Kyokka oluvannyuma bwe nabuuzizza akulira ekibiina kino Natukunda, yantegeezezza nti: “Twogera ne bannaddiini mu nzikiriza zonna, bamanye bamalaaya era baleme kubasindiikiriza kubanga be basinga okwetaaga obuyambi bwa bannaddiini.

Poliisi n’abakulembeze b’ebitundu eby’enjawulo naddala bassentebe b’ebyalo nabo tubasisinkana ne twogera ku nsonga zaffe.”

Ensibuko y’obwamalaaya mu Uganda Hajji Abduwufuf Ssenjala Mpomba 86, nga yaliko omusuubuzi mu kibuga Kampala yagambye: Obwamalaaya bwatandika eyo mu myaka gya 1940, Abayindi baali bangi mu kibuga Kampala nga be basinga okukola ebyobusuubuzi, nga batambuza ebyamaguzi okuva e Kenya, Congo ne Tanzania.

Eyo waaliyo abakyala abeetunda era omuze guno gye gwakoppebwa, abasajja abaavuganga ebimotoka baategeeza abakyala bano okuva mu nsi endala bajje e Uganda kuba teri bakola mulimu ogwo.

Abakazi okuva e Tanzania be baasooka okuleeta kuno obwamalaaya, era baatuukira mu Kisenyi wano mu Kampala ne bapangisaawo obuyumba, tebaalinanga mirimu, mu miryango gy’obuzigo bwabwe bateekangamu buleesu ate nga nabo basiiba beesibye buleesu, nga kuno kw’otegeerera nti beetunda, baagulibwanga ssente 50.

Mu 1945 Bannayuganda nabo baatandika okwenyigira mu bwamalaaya nga balaba Abatanzania bakola ssente, mu 1947, Ssekabaka Muteesa ng’ayita mu gavumenti y’e Mmengo, yatandika okukwata bamaalaya ne babavunaana.

Naye era bwasigalamu. Ku meefuga g’eggwanga kyayitirira, kuba bwayongera okutumbuka, anti abantu baavanga mu byalo okujja e Kampala ng’abamu tebaddayo, Ameefuga olwaggwa bweyongera.

Waaliwo ebbaala okuli: White Nile e Kibuye, New Life Bar, ku Kyeggunda e Nakulabye, ewa Kaala e Nateete, e Makerere ku bbiri, mu Ndeeba n’ebifo ebirala, yonna ne batandika okusenserayo, nga bakeera ku bbaala zino okulinda abasajja abagula omwenge okubagula.

Idi Amin Dada, eyali omukulembeze w’eggwanga bwe yatuula mu Ntebe n’alinnya ku nfeete obwamalaaya, naye bwalinga lumbugu lukulira muli munda, wadde yali abuweze naye mwalimu abatono abaasigala beetunda mu kimugunyu.

Bwe yava mu Ntebe ate ne buddamu okutojjera buto ne bugenda nga bukulira ddala era kati wadde gavumenti egamba nti tebuli mu mateeka, naye ebifo gye bakolera bimanyiddwa kyere naye teri kikolebwa.

Mu kaweefube w’okumalawo siriimu bamalaaya balina okukolebwamu omulimu ogw’amaanyi kubanga bakola kinene okumutambuza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....