TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Abanoga n'okusuubula emmwaanyi embisi baakuweweenyulwa kibooko'

'Abanoga n'okusuubula emmwaanyi embisi baakuweweenyulwa kibooko'

By Musasi wa Bukedde

Added 6th November 2017

KIBOOKO zigenda kuvaayo okuwewenyula abanaasangibwa nga baanise n'okunoga emmwanyi embisi kuba baviirideko obubbi bw'emmwanyi okweyongera n'okutta omutindo gwazo.

Kuba 703x422

Kamisona wa Poliisi y'ebyobulimi ng'ayogerako eri abalima n'abasunsula emmwaanyi. EKIF: SAMUEL KANYIKE

Bino byayogeddwa omukungu okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw'emmwanyi ekya UCDA, Alice Nansamba ng'ali e Kasana - Luweero mu lukiiko olwetabiddwaamu abalimi, abasuubuzi n'abasunsula emmwaanyi.

Kino kyaddiridde abalimi okwemulugunya ku babbi abawulula emmwaanyi zaabwe ekiro ne basala n'amatabi ne banogera ebbali nti be bavuddeko bannannyini mmwanyi okusalawo okuzinoga nga mbisi.

Nansamba yagambye nti emmwaanyi erinnya lyazo kibooko n'agamba nti oyo atawuliriza leediyo, kulaba ttivvi na kusoma mpapula z'amawulire ebirabula ku mmwaanyi embisi ne yeekwasa obutamanya mateeka asigale ku kizinga kuba ebiddirira ng'akwatiddwa y'anaamanya.

Yagambye nti agula emmwanyi embisi ye yeeyagalira nga teri amukaka n'ayongerako nti oyo yenna anaakakanyala ne yeefuula nnantagambwako bamulonkome akolweko

Yavumiridde abagula ebimuli ne baseera bannanyini mmwanyi ne babaviirako okuzibba n'abasaba okuva ku nkola eno bategeeragane abalimi babawe kkiro z'emmwaanyi nga zimaze okwanikibwa okusinga okulemera mu nkola y'obubbi gye yagambye nti tekyakola.

OWA POLIISI Y'OBULIMI AYOGEDDE

Kaminsona avunaanyizibwa ku poliisi y'obulimi, Hillary Odoch yalambuliridde abantu mu mateeka g'emmwanyi amapya kyokka n'anenya abaami abatunda emmwanyi ne batagabana na bakyala na baana baabwe nti nabo baviiddeko okubba emmwanyi.

Yasabye abalimi okussa abakuumi mu nnimiro zaabwe naddala ng'emwaanyi zitandise okwengera bakwate ababbi bakangavvulwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Keb2 220x290

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga...

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga wa mukyala we gwe yaggya ku banoonya

Tip1 220x290

Jennifer Musisi akoledde abasambi...

Jennifer Musisi akoledde abasambi ba KCC n'abawagizi akabaga

Wab2 220x290

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza...

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza mu kkanisa

Dep2 220x290

Jjajja otukoze bulungi okutulekera...

Jjajja otukoze bulungi okutulekera omusingi gw'eddiini mu bulamu

Rp1 220x290

Eddiini gye watusigamu etuyambye...

Eddiini gye watusigamu etuyambye okuba obumu