TOP
  • Home
  • Agawano
  • Amabanja ga Kikungwe gatiisizza aba famire

Amabanja ga Kikungwe gatiisizza aba famire

By Ponsiano Nsimbi

Added 7th November 2017

EYALI omubaka wa Kyaddondo South, Hajji Issa Kikungwe wadde abadde n’ebyobugagga bingi aba famire baguddewo ekigwo bwe bakitegedde nti abadde n’amabanja mangi agayinza n’okutwaza ebimu ku byobugagga bye.

Killa 703x422

Ekizimbe ekisangibwa e Nalukolongo.

Taata w’omugenzi gw’abadde asigaza Sheikh Ssali yategeezezza abakungubazi nti, abadde alina abantu bangi omuli n’abanene mu Gavumenti ne mu bibiina byobufuzi b’abadde abanja nga tebamusasula.

Yagambye nti naye yennyini (Kikungwe) abadde abanjibwa ssente za bbanka ze yeewola okukola emirimu n’asaba abamanyi nti yabawola ssente bazisasule kitaase okutwala ebyobugagga by’omugenzi.

Omugenzi abadde ne kkampuni ewola ssente eyitibwa MASSA sacco. Mu 2011 bwe yasooka okugenda okulongoosebwa e Buyindi n’amalayo emyezi ebiri yagenda okudda ng’abakozi batabudde bizinensi nga obukadde 400 tebulabikako.

Yatwala omusango mu kkooti ewalirize abakozi okusasula ssente kyokka afudde tebazizizza ng’ate kigambibwa nti yazeewoola mu bbanka.

Sheikh Ssali yategeezezza abakungubazi abaabadde mu kuziika e Nabbingo nti omugenzi bw’abadde agenda okujjanjabibwa ng’abakozi bakyusa ebiwandiiko n’okutwala ebyobugagga.

N’agamba nti wadde babadde bamulaba ng’omugagga kyokka amabanja gamubadde mu bulago n’asaba abalina ssente z’omugenzi okuziwaayo.

Imam Ddumba Kawuki yagambye nti Kikungwe yamutegeeza ku mabanja g’alina nga bye bimu ku bibadde bimweraliikiriza.

N’agamba nti afudde simumativu kuba naye abadde alina bangi babanja kyokka nga tebamusasula.

Supreme Muft, Sheik Siriman Ndirangwa bwe yabadde asaalira omugenzi yategeezezza nti buli alina ebbanja ly’omugenzi atuukkirize obweyamo asasule.

Yategeezezza nti wadde omugenzi afudde naye abaana ne famire ye w’eri nga ababanjibwa bandibadde basasula okusobola okutaasa ebyobugagga by’omugenzi.

Ku ludda lw’emizannyo, abadde ne Club y’ebikonde eyitibwa Kikungwe Boxing Club kyokka olw’ebizibu mu byenfuna babadde tebalina ssente.

Omuteesiteesi w’ekibiina kya DP , Sulaiman Kidandala Sserwadda yategeezezza nti omugenzi abalese mu bbanga era ku ludda lw’ebyenfuna abadde abakwatiridde era abadde amanyi okunoonya ssente n’okutegeka emikolo gy’ekibiina.

Omugenzi yafudde oluvannyuma lw’okulongoosebwa ekizimba ku mutwe n’afuna pulesa eyamusse.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jose 220x290

Munnayuganda alidde obusumba e...

PAAPA alonze Munnayuganda Msgr Joseph Kizito okuba omusumba w’essaza lya Klezia ery’e Aliwal e South Afrika.

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...