TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Mabiriizi adwadwalikanye n'omulamuzi lwa kugoba musango gwa 'Kyapa mu ngalo'

Mabiriizi adwadwalikanye n'omulamuzi lwa kugoba musango gwa 'Kyapa mu ngalo'

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2017

MALE Mabiriizi awaanyisiganyizza ebigambo ebisongovu n’omulamuzi Joy Kabagye olw’okugaana okuyimiriza enkola ya 'Kyapa mu ngalo' n'amulangira nti kkooti ye ekolera ku bwannakyemalira.

Mabiriizi3 703x422

Mabiriizi ng'annyonnyola oluvannyuma lw'omulamuzi okugoba okusaba kwe. EKIF: ALICE NAMUTEBI

BYA ALICE NAMUTEBI

Omulamuzi Kabagye atuuse n’okuboggolera Mabiriizi nti “ Si ggwe eyansomesa era tolina kundagira kyennina kola nga ntuukiriza obuvunaanyizibwa bwange” kyokka Mabiriizi n'amulemerako okumulemesa okusoma ensala ye.

Mabiriizi ne balooya ba Kabaka abakulembeddwaamu Christopher Bwanika olutuuse mu kkooti omulamuzi Kabagye n'abuuza  nti:

” Muli beetegefu okufuna ensala yange”? Bwanika (looya wa Kabaka) n'addamu nti; "ow’ekitiibwa tuli beetegefu" wabula Mabiriizi n'agaana n'agamba nti nti; ” ow’ekitiibwa okusinziira ku mateeka agafuga abalamuzi tolina buyinza  buwulira na kuwa nsala mu musango guno kubanga omusango gwange muzito ku ddaala ly'oliko era okuwa ensala obeera omenya mateeka”.

N'ayongerako nti; ” Okyali mulamuzi wa kkooti ento [chief magistrate] kubanga tonnakakasibwa ku bwa mumyuka w’omuwandiisi wa kkooti n’olwekyo olina emisango gy'otalina kuwulira nga n’ogwekyapa mu ngalo mw'ogutwalidde”.

Mabiriizi bakira ayogera ng'omulamuzi amutunuulidde, talina kyawandiika kwe kumusaba ebigambo byonna by'ayogedde abiwandiike ku fayiro, ekintu ekyanyiizizza omulamuzi n'akangula ddoboozi n'amubuuza oba ye yamusomesa amateeka.

Mabiriizi yeekandazze nga yenna bw'ayomba ekiwalirizza Bwanika okuyita poliisi ekkakkanye embeera.

Wadde Mabiriizi yeekandazze, omulamuzi Kabagye agenze mu maaso n'asoma akatundu akasembayo ku nsala ye mw'agobedde okusaba kwa Mabiriizi okuyimiriza 'Ekyapa mu ngalo'.

Mabiriizi alabye guli gutyo n'afuluma kkooti nga bw'awera okujulira, n'agamba nti yawandikidde dda akulira abalamuzi ba kkooti Enkulu, Dr. Yorokamu Bamwine okulonda omulamuzi omutuufu alina okuwulira omusango gw’ekyapa mu ngalo.

Mabiriizi abadde ayagala kkooti eyimirize 'Ekyapa mu ngalo' okutuusa ng’omusango gwe mw'awakanyiza Kabaka okulagira abali ku ttaka okwewandiisa gumaze okuggwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...