TOP

Gav't eragidde badokita okudda ku mirimu

By Muwanga Kakooza

Added 8th November 2017

GAVUMENTI egambye badokita abali mu keediimo akatutte ennaku esatu okudda ku mirimu ng’egamba nti ensonga zaabwe zikolwako.

Aceng2 703x422

Minisita w'Ebyobulamu, Dr. Aceng ng’ayogera eri bannamawulire

Minisita w’ebyobulamu, Dr. Ruth Aceng abadde ne Minisita w’eggwanga ow’ensonga z’abakozi ba gavumentu David Karubanga bagambye nti emisaala n’ensako ya badokita abalina emirimu emitongole mu gavumenti bigenda kukolerwako wamu n’abakozi ba gavumenti abalala era zirinze bigenda kuva mu kakiiko akassibwawo okwekenneenya emisaala gy’abakozi ba gavumenti bonna.

Ebinaava mu kakiiko kano bisuubirwa kufuluma ku nkomerero ya mwezi guno, badokita 2,300 be balina emirimu emitongole mu gavumenti.

Kyokka baminisita bagambye nti bonna ssi bammemba ba kibiina ekigatta badokita ekya ‘’Uganda Medical Association’’.

Omwogezi w’ekibiina kya badokita kino, Paul Kavuma ategeezezza Bukedde nti bbo beetegefu okugenda n’ekisaliddwawo kuba akakiiko baminisita ke boogerako kabuzaayo mwezi gumu gwokka.

Aceng ne Karubanga ababadde ku Media Centre mu Kampala bagambye nti badokita abakozesebwa mu malwaliro nga bali mu kutendekebwa (intern doctors) ssi bakozi ba gavumenti era bafuna nsako yokka.

Bategeezezza nti ensako yaabwe egenda kusigala nga bwe yali omwaka oguwedde era tegenda kussibwako wadde okwongerwako.

Baminisita bagambye nti ku by’okusula badokita abali mu kutendekebwa ensako yaabwe ebawebwa ezingiramu n’eby’okusula. Ng’ate badokita abali ku mirimu gya gavumenti emitongole bo bafunirwa aw’okusulwa era bwe gutyo bwe gubadde.

Bagambye nti badokita abali emabega w’akeeddiimo abamu ssi bakozi ba gavumenti n’olwekyo eby’okusaba okwongera emisaala n’ensako babiriko mu bukyamu.

Bongeddeko nti  ebibiina ebirwanirira embeera z’abakozi ba gavumenti ebimanyiddwa nga ‘’unioins’’ bye birina okuba mu nteeseganya n gavumenti mu kulwanirira embeera z’abasawo so ssi bibiina birala nga ekya Uganda Medical Association.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...

Abapangisa aba boda ne babatta...

Omu bamutuze omulambo ne bagwokya mu maaso