TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Maama Fiina ayogedde ku nnyumba eyali bba gye yatunze:‘Nze nagimuwa’

Maama Fiina ayogedde ku nnyumba eyali bba gye yatunze:‘Nze nagimuwa’

By Joseph Mutebi

Added 11th November 2017

MAAMA Fiina (Sofia Namutebi) atangaazizza ku nnyumba gye yagabira eyali bba, Haji Ismail Ssekidde oluvannyuma eyagiguzizza omusumba w’abalokole e Mityana.

Maama 703x422

Amaka ga Maama Fiina bba, Ismail Ssegujja ge yamugulidde e Bwebajja mu Akright.

Ennyumba eno Ssekidde yagiguzizza Pasita David Rubainda owa Pentecostal Church e Busimbi ku bukadde 450.

Mu kiseera kino omulokole eyagiguze ali mu kugisabira ng’agamba nti agobamu mizimu era yagitumye ‘Miracle House.’

Ye Maama Fiina agamba nti okuva lwe yayawukana ne Ssekidde mu November 2011 n’afumbirwa omugenzi Maj. Mohammed Kigunddu mu 2014, taddangayo kulinnya Mityana mu maka gano kuba enju yagiwa Ssekidde mu butongole.

“Ssekidde engeri gy’ali taata w’omwana wange era nga ye musajja gwe nasooka okulaba nga nkyali muto e Kyabazaala gye banzaala ate ne mmuzaalira muwala waffe Swabulah Nakidde mu 2007, bwe twayawukana olw’ebiwundu bye yali antuusizzaako ku mutima nasalawo mmulekere buli kye twakola naye,” Maama Fiina bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti bwe baamala okuzimba enju eno, yagenda e Dubai gye yagula buli kintu kye baagissaamu kyokka byonna bwe yali anoba yabirekayo.

Agamba nti kuno Ssekidde yamugattirako emmotoka bbiri okwali Spacio ne Prado TX. “Sirina lutalo na Ssekidde kutunda bibye kuba enju nagimuwa mu bulungi twawukane nsigaze obulamu era waddembe okugiguza gw’ayagala wadde mulalu era nsaba Pasita Rubainda agamba nti yagiguze aleme kukitwala nti yaguze enju ya Maama Fiina, nze nagigaba dda.

Ssekidde namuwa ebyapa by’enju eyo mu 2012 n’olukusa okubikyusa era bwe yali atunda namuteerako omukono. Saalondoola ani gw’agiguzizza era saamusabye wadde ekikumi ku ssente ze. Mu kiseera kino Haji Ssekidde ali Dubai alya bulamu.

 asita ngasabira enju gye yaguze ku sekidde eyali bba wa aama iina Pasita ng’asabira enju gye yaguze ku Ssekidde eyali bba wa Maama Fiina.

 

E Mityana nasigala kugenda ku ffaamu yange, olusukku oluli e Mbaliga n’okulambula amaduuka gange agatunda ggomesi z’abakyala agali mu kibuga Mityana.

Okuzimba amaka g’e Mityana ku kyalo Buswabulongo mu Munisipaali y’e Mityana nali nzimbye maka ga mu kyalo okuwummuliramu nga gabalirirwamu akawumbi kamu n’obukadde 140 (1,140,000,000/-) wabula kati nazimba amalala e Matugga lubiri lulamba era eno gye nali mbeera n’omugenzi Maj. Mohammed Kiggundu.

Bwe nawooweddwa omwami wange nnannyini pawundi, Ismail Ssegujja yangulidde amaka mu Akright e Bwebajja nga kati gayooyootebwa era tujja kugayingira mu butongole mu January wa 2018 nga baze akomyewo mu Uganda.

Ssegujja obulamu bwange yabukyusizza era n’omwana wange gwe nazaalira Ssekidde yamuggye mu masomero aga bulijjo n’amutwala mu Taibah International School ku lw’e Ntebe.

Era yankoledde ku butuuze bw’e Bungereza n’omwana wange Nakidde era bwe twagala okugenda okuwummulako tugenda bugenzi,” Maama Fiina bw’agamba.

Maama Fiina alina amayumba e Bulenga, Matugga, Bwebajja, Makindye mu Kizungu, Namugongo, Kyaliwajjala n’ebitundu ebirala.

Amaka ge yawa Ssekidde ge yatunze gali ku yiika bbiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190719080947 220x290

Bukedde TV Livestream: Ekyenkya...

Bukedde TV Livestream: Ekyenkya

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...