TOP

Omubaka Nambooze akubye ku matu

By Musasi wa Bukedde

Added 11th November 2017

OMUBAKA Betty Nambooze akiikirira ekibuga Mukono abasawo b’e Buyindi bamulongoosezza omugongo ne bamuteekamu ekyuma.

Nambooze 703x422

Bakireke ng’abuuza ku mukyala we. Ku ddyo ye muwala waabwe.

Nambooze ali mu kujjanjabibwa e Buyindi, olwazze engulu n’ateeka obubaka ku mukutu gwe ogwa Facebook nga yeebaza Katonda nti yabadde azze bulungi engulu.

Mu be yasoose okwebaza yabadde Rtd Col. Kiiza Besigye gwe yayogeddeko nti ye pulezidenti era ddala pulezidenti w’abantu.

“Bamaze bulungi okunnongoosa. September 27 nagenda mu palamenti nga nnina enkizi, olwaleero nnina kyuma mu mugongo. Babba akalulu kange era babbye enkizi yange nga bwe balwana okutwekakaatikako balemere mu buyinza mu nsi gye batasobola wadde okujjanjaba omubaka wa palamenti,” Nambooze bwe yaggumizza mu bubaka.

Elyvis Nsonyi kayungirizi w’emirimu mu kibiina kya DP yategeezezza nti yayogedde ne Leticia muwala wa Namboozi n’amutegeeza nti baamulongoosezza n’adda bulungi engulu.

Ayongerako nti Nambooze yalina okugenda e Buyindi ekiseera abasawo kye baalagira, wabula baagenze okulaba nga kiyitako nga palamenti tennamuwa ssente kyokka ng’omugongo guvunda kwe kukubaakuba mu beemikwano ne bamusondera ssente n’ayongerezaako ezize n’asobola okugenda e Buyindi.

Omwogezi wa Palamenti, Chris Obore yagambye nti amanyi Nambooze ali Buyindi ajjanjabibwa naye tamanyi mbeera ntuufu ye gy’alimu kuba tannabategeeza naye ky’akakasa nti baamusindikidde ssente z’obujjanjabi era yazifunye. Omuwendo gwa ssente Palamenti ze yawaddeyo Obore teyazoogedde.

Nambooze ali mu Munipal Hospital Bangolere India, erimu ku malwaliro agali mu mikono gya Dr. Vanhidyadhra owa Spine Care consultant/surgeon okusinziira ku bubaka Nsonyi bwe yawadde.

Yagambye nti Nambooze bamusuubira okubeera e Buyindi ng’akyajjanjabibwa n’abasawo bongere okumwetegereza.

Obubaka obulala Nambooze bwe yatadde ku Facebook ku Lwokuna, kwe kuli obuliko ekifaananyi ky’omukazi Omuyindi ng’amuwa ekimuli.

Yagambye nti omukazi ono Kristan Olungereza alutegeera kitono tebawuliziganya nnyo naye bwe baamunnyonnyodde embeera eyamutuusa ku kitanda e Buyindi kwekuddayo n’amuleetera ekimuli okumuyozaayoza.

September 27, 2017 obutambi n’ebifaananyi byabuutikira emikutu gy’amawulire okwetoloola ensi yonna ng’Ababaka ba palamenti ya Uganda balwanagana n’abaserikale baali bambadde engoye ezabulijjo, abaayingira mu Palamenti okufulumya ku kifuba ababaka Sipiika Kadaga be yali alagidde bafulume mu palamenti ne balemeramu.

Embeera eno yali evudde ku babaka abaali baagala okulemesa Omubaka wa Igara West, Raphael Magyezi okwanjula ekiteeso ekisaba okukola ennongoosereza mu nnyingo 102 (b) okuggya ekkomo ku myaka gy’omuntu ayagala okwesimbawo ku bwa pulezidenti mu Uganda.

Ababaka okuli Namboozi ne Zaake Butebi ensitaano eno baagivaamu n’ebisago ebyamaanyi era mu kiseera kino bakyali mu ddwaaliro bajjanjabibwa.

Nambooze yasooka kujjanjabirwa ku Bugoloobi Medical Centre ate Zaake ne bamujjanjabira mu ddwaliro e Lubaga oluvannyuma yatwaliddwa mu Amerika.

Joseph Gonzaga Sewungu nampala w’ababaka ba DP mu palamenti yagambye nti eky’okusondera Nambooze ssente tekiriimu buzibu omuntu yenna asobola okuweebwa.

Kyokka yakakasizza nti yateeka omukono ku mpapula za palamenti ezimukkiriza okugenda ebweru okujjanjabibwa era yaweebwa ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono