Ebibiina bino ebyegattira mu kibiina kya ‘’The Legal Aid Service Providers Network (LASPNET) ‘ okusaba baakukoze basisinkanye omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah.
Ebibiina byakulembeddwa ssentebe w’olukiiko olufuzi Sam Nsubuga.
Akulira ekibiina kino, Muky. Syivia Namubiru Mukasa yagambye nti waliwo obuzibu mu by’amateeka kuba abantu bangi abanaku tebasobola kufuna balooya babawolereza olw’obwavu.
‘’Twakola ebbago ly’okuyamba abanaku okufuna okuwolerezebwa okw’obwereere ne tuliwa olukiiko lwa baminisita eri abatalina busobozi kuba bangi naddala mu byalo tebakufuna,’’ Namubiru bwe yategeezezza.
Yagambye nti waliwo ensonga ng’enkaayana, okusiba abaana abatanneteuuka, okufiira eby’obuggagga n’ebirala ebyetaaga obuyambi kyokka ng’abanaku abasinga tebabifuna,’’ Namubiru bwe yayongeddeko.
Yasabye Palamenti esse gavumenti ku nninga okuleeta ebbago lino, nti bannamateeka abawoza ku bwereere basobola okuyamba abantu bano mu kifo ky’okwenyoolanga ne poliisi.
Oulanya yagambye nti bajja kukikolako mu kiseera ky’okubuuza Katikkiro (Dr. Ruhakana Rugunda ) ebibuuzo mu Palamenti.
N’agamba nti bannakibiina basobola n’okukaka gavumenti okuliwa omubaka ssekinnoomu n’alyanjula mu Palamenti.