TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abaana temubalekera bakozi ba waka - Gen. Katumba

Abaana temubalekera bakozi ba waka - Gen. Katumba

By Henry Nsubuga

Added 13th November 2017

Gen. Edward Katumba Wamala nga ye Minisita omubeezi ow’emirimu asabye abazadde okukuuma ennyo abaana mu luwummula balame kubalagajjalira n’okubalekera abakozi.

Mkngen2 703x422

Gen. Katumba ng'afuuwa abayizi oluvannyuma lw'okwolesa ebitone.

Gen. Edward Katumba Wamala nga ye Minisita omubeezi ow’emirimu asabye abazadde okukuuma ennyo abaana mu luwummula balame kubalagajjalira n’okubalekera abakozi.

Katumba yagambye nti abantu ab’obulabe beesomye okuwamba abaana nga bababuzaawo n’ebigendererwa omuli okubasaddaaka n’okubatusaako obulabe obw’enjawulo.

“Abazadde ennaku zino kyannaku nti abaana mubalaga omukwano mungi nga bali ku masomero, bwe kabatanda ne bawummula nga mubalagajjalira oluusi ekibaviirako n’okugwa mu buzibu ate ne mudda mu kukaaba amaziga.

Nsaba twewale embeera eyo ereme kututuukako mu luwummula luno oluwanvu olwa December,” Katumba bwe yategeezezza.

Okulabula kuno, Katumba akukoledde ku ssomero lya Global Junior School e Mukono ng’abayizi aba nnassale boolesa ebitone byabwe omuli okuyimba, okuzina n’okuzannya emizannyo.

Katumba n’abazadde batenderezza ne beewuunya engeri abayizi ate abato ddala gye baabadde boolesaamu ebitone mu ngeri ez’enjawulo.  Abayizi bazannye ennyimba z’abayimbi ssaako okukola omukolo gw’okwanjula mu ngeri ey’ekikugu ekyalese buli muntu ng’abanyeenyeza mutwe.

Katumba yasabye abazadde obutaddayo kukuba oba okulemesa abaana baabwe okuyimba n’okuzannya emizannyo wabula babayambe okulaba nga batumbula ebitone byabwe. Bano baabadde batambulira ku mulamwa ogugamba nti “okusoosowaza obuwangwa mu nkulaakulana”.

Ne RDC w’e Mukono, Maj. David Matovu naye yasabye abazadde okuyamba abaana okutumbula ebitone byabwe kuba kati gwe gumu ku mirimu emikulu egiyimirizaawo abantu nga babiggyamu ensimbi ezisinga n’abaasoma abalina ddiguli.

Omukulu w’essomero, Anthony Kato Ssentongo yategeezezza nti ng’essomero bafuba okulaba nga batumbula obuwangwa n’ennono mu bayizi okuviira ddala nga bakyali bato.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga