TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Luweero balaalise Museveni ku by'azze abasuubiza

Ab'e Luweero balaalise Museveni ku by'azze abasuubiza

By Musasi wa Bukedde

Added 13th November 2017

BANNALUWEERO battukizza okujjukiza pulezidenti Museveni ebisuubizo byazzenga abasuubiza ebitannatuukirizibwa bye baasabye bikolebweko mu bwangu okwewala abantu okubakaluubirira naddala ku nsonga ya “Togikwatako” n’ebirala ebijja mu maaso.

Save1 703x422

Nadduli ng'awayaamu n'aba NRM e Luweero. EKIF: SAMUEL KANYIKE

Mu bijjukizo bye baayogeddeko mulimu; okuzimba ekitebe kya disitulikiti, eddwaliro lya Kasana, ekkolero erikamula ebibala, amasannyalaze, enguudo omuli Ziroobwe-Kikyusa-Kasana, Ziroobwe - Wobulenzi n’ebirala.          

Baabitegeezezza minisita atalina mulimu gwa nkalakkalira, Haji Abdul Nadduli bwe yabasisinkanye mu Luweero Community Centre okukkaatiriza ensonga y’okukyusa ssemateeka akawaayiro 102(b) ku kkomo ku myaka gya Pulezidenti ne bagamba nti omwana gwe baazaala tebayinza kumuvuluga mu ttaka era baagala ekwatibweko kyokka nga bakola ku bizibu byabwe.        

Kansala w’eggombolola y’e Butuntumula Aisha Kayaga yagambye, “Mzee gwe twalwana naye era ng'eno ye Mecca wa NRM bw'anaalemwa okutuukiriza bye yatusuubiza ani alibituwa ng’avuddewo era tulina n’enjogera egamba nti mujjanga ne mulya bwendivaawo mulikomba endagala”.         

Ssentebe w’eggombolola y’e Makulubita, Charles Kalibbala yagambye nti, “ennyingo 102(b) tugikwatirako nsonga nga tusaba Luweero ekyuke yeegombese kuba ku myaka 30 gye tumaze mu buyinza ssente weeziri tukolere abantu bye baagala tutuuke okunoonya obululu mu 2021 ng’abantu bazina buzinyi”      

Kansala w’eggombolola y’e Luweero Rosette Katende yagambye nti abavubuka tebalina mirimu nga kyetaagisa okubafunira eby’okukola baleme kudda mu matatu na beetingi n’okufuukira ebitundu n’eggwanga ekizibu.    

Ssentebe w’eggombolola y’e Luweero, Emmy Semugabi yasabye enkiiko zikubwe mu bifo by’olukale basobole okuvuba abantu naddala abavubuka n’asaba eggwandiikiro lya NRM lireme kutuula Kampala nga Katonga ajjula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ne Kagame...

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana...

Katolubwamalubaga2 220x290

Honalebo ennuuni eyo tugende nayo...

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde...

Sengendo2002web 220x290

Twagala abakazi abateekomomma mu...

Abasajja banoonya abkazi baakuwasa nga tebeekomomma mu kulaga amapenzi, abalungi ate nga baabuulirirwa

Sharonweb 220x290

Banoonya abasajja abateemotyamotya...

Abakazi abanoonya abasajja abateemotyamotya mu laavu.

Prowew 220x290

Proline etutte Matia Lule

Ekifo ekyabadde ekya Shafiq Bisaso ku Proline kitwaliddwa Matia Lule.