TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Temukkiriza kukozesebwa mu kwekalakaasa - Kibuule

Temukkiriza kukozesebwa mu kwekalakaasa - Kibuule

By Henry Nsubuga

Added 13th November 2017

Minisita omubeezi ow’amazzi mu ggwanga, Ronald Kibuule alabudde aba bodaboda okwewala okukozesebwa bannabyabufuzi okwenyigira mu kwekalakaasa.

Mknkib2 703x422

Minisita Kibuule n'aba bodaboda be yagulidde pikipiki kw'atudde.

Kibuule yagambye nti bano basaanidde okubeegendereza kuba ate eby’embi bwe babasendasenda okwenyigira mu kwekalakaasa nga n’oluusi kumenya mateeka poliisi n’ebakwata ne pikipiki zaabwe, nga bbo babaleka okuvundira mu makomera.

Yagambye nti bano mu kifo ky’okuyamba bannabyabufuzi okutuukiriza ebigendererwa byabwe, bakwatagane ne poliisi ebayambe okufuna ebisaanyizo, okubasomesa engeri y’okulwanyisa abamenyi b’amateeka ababakuba obutayimbwa n’okubba pikipiki zaabwe.

Okwogera ebyo Kibuule yabadde akwasa aba bodaboda ku siteegi y’e Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono pikipiki ekika kya bajaj kapyata gye yabagulidde basobole okutereka ssente beekulaakulanye.

Baabadde Mbalala mu maka ge ku Lwomukaaga.

Ate omu ku bakulembeze ba siteegi eno, Moses Muwanguzi yagambye nti babaddenga n’ebizibu bingi omuli n’okulemererwa okudduukirira bannaabwe nga bagudde ku bubenje nga bagenda kukozesa ssente ezigenda okuva mu pikipiki eno okuteekawo ensawo edduukirira abagudde ku bizibu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ne Kagame...

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana...

Katolubwamalubaga2 220x290

Honalebo ennuuni eyo tugende nayo...

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde...

Sengendo2002web 220x290

Twagala abakazi abateekomomma mu...

Abasajja banoonya abkazi baakuwasa nga tebeekomomma mu kulaga amapenzi, abalungi ate nga baabuulirirwa

Sharonweb 220x290

Banoonya abasajja abateemotyamotya...

Abakazi abanoonya abasajja abateemotyamotya mu laavu.

Prowew 220x290

Proline etutte Matia Lule

Ekifo ekyabadde ekya Shafiq Bisaso ku Proline kitwaliddwa Matia Lule.