
Abayizi ba Crested Secondary School nga bali mu kigezo ekisoose ekya siniya eyoomukaaga. EKIF: MARGARET ZALWANGO
BYA MARGRET ZALWANGO
Agamu ku masomero okuli erya Royal College Makindye ebibuuzo babitandise ku ssaawa 3 mu kifo ky'essaawa 2:30 eziragirwa mu mateeka ga UNEB.
Kino kivudde ku kulwawo kufuna bigezo mu kifo we bateekeddwa okubiggya.
Omukulu wessomero (agaanyi okumwatula amannya ) agambye nti poliisi eruddewo okubawa empapula nga kino kivuddeko okatandiika ekikerezi kyokka ng'obudde bwe babeera balina okumalirako okukola tebwongezebwayo.
Ate ku ssomero lya Crested Secondary School zigenze okuwera essaawa 2:30 nga abayizi bakkalidde dda mu bifo byabwe okutandiika ekigezo kyabwe ekisooka.
Lydia Imbingira akulira essomero lino ategezezza nti tebafunyeemu buzibu bwonna kubanga babadde beetegese bulungi ate nga n’abaana babadde n’akadde akamala okweteekateeka obulungi okukola ebibuuzo byabwe.
Abayizi batandise n’olupapula lw'okubala eri abo abakola amasomo ga ssayansi so nga aba 'Arts' batandise na History (soma Ebyafaayo).