TOP

Faaza Kibuuka bamuwadde ebbeetu awase omukazi

By Musasi wa Bukedde

Added 14th November 2017

FAAZA Jacinto Kibuuka eyazza emisango mu Bukatoliki ne yeegoba n’ayingira mu ddiini empya eyitibwa Evangelical Orthodox Church bamutikidde ku ddaala ly’obusumba era atwala enzikiriza eno mu Uganda Tom Kiiza Sibayirwa n’amutegeeza nti kati wa ddembe okufuna omukyala awase azaale n'abaana.

Baka 703x422

Kibuuka (wakati) ng’akwasa Otafire ekirabo.

Yamutegeezezza nti amateeka agali mu ddiini yaabwe gawa abasumba ebbeetu okuwasa nga baagadde ate ne gakkiriza n’abo abatayagala kuwasa okubeererawo nga talina mukyala .

Yagambye nti kati kiri eri musumba Kibuuka okusalawo ddi lwe bamufunira omukyala omubalagavu bakole amaka.

Omusumba Tom Kiiza Sibayirwa yategeezezza abagoberezi nti omuwala ayagala omusajja waddembe okusaba omusumba Kibuuka obufumbo nti kyokka okusaba kwe bonna bateekwa kukuyisa mu ye n’akubatuusiza.

Ebigambo bya Sibayiirwa byacamudde abamu ku bagoberezi be ne bakuba obuluulu kyokka abalala baalabise ng’emitima gibennyise olw’okuba yali musosodooti.

Omukolo gw’okumutikkira gwabaddewo ku Ssande mu kifo kye ekisangibwa e Namugongo.

Minisita w’amateeka, Kahinda Otafire ne Minisita akola guno naguli Hajj Abdul Nadduli be baakiikiridde Gavumenti ate Sheikh Umar Ssekazza okuva e Kyaliwajjala ye yakiikiridde Obusiraamu.

Kyokka Eklezia yafulumizza ekiwandiiko ekyalagiddwa okusomebwa mu buli mmisa yonna eyayimbiddwa ku Ssande nga kitegeeza nti byonna Kibuuka by’akola tebirina kakwate na ddiini ya Bukatoliki.

Mu mmisa eyabadde mu Klezia ya St. James Biina Mutungo, ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Tororo, Emmanuel Obo, yategeezezza nti Kibuuka by’akola byewuunyisa.

Minisita Kahinda Otafire yagambye nti Gavumenti emuwagira mu byonna by'akola era egenda kumuwa obukuumi okukakasa nti tafuna kizibu kyonna.

Otafire mu ssanyu yamuwadde ente bbiri ezirina eggwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...