TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Owa S.6 ayimirizza okulonda kwa LC mu ggwanga lyonna

Owa S.6 ayimirizza okulonda kwa LC mu ggwanga lyonna

By Musasi wa Bukedde

Added 14th November 2017

OKULONDA kwa LC kuzzeemu omukoosi, kkooti enkulu e Jinja bw’ewadde ekiragiro ekiyimiriza okulonda ku byalo okumala emyezi ebiri.

Londa1 703x422

Kino kiddiridde omuyizi wa S.6 mu Jinja SS , Allan Alibawani 19, okwekubira enduulu mu kkooti ng’agamba nti ekiseera okulonda kuno wekugenda okubeererawo agenda kubeera ng’ali mu kukola bigezo tagenda kufuna mukisa kwetabamu.

Alibawani mutabani wa Grace Kiirya, ng’ayita mu munnamateeka be ba Martin Asingwire Baryaruha yasabye kkooti ewe ekiragiro ekiyimiriza okulonda kuno.

Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu e Jinja, Jessy Byaruhanga, eggulo yayisizza ekiragiro ng’ayimiriza okulonda kwa LC okumala ekiseera kya myezi ebiri okutuusa ng’omusango Alibawani gwe yawaaba guwuliddwa.

Ekiragiro yakiwadde ng’akakiiko k’ebyokulonda tekali mu kkooti kyokka n’ategeeza nti baakategeeza ku nsonga eno.

Bino webijjidde, ng’olwaleero akakiiko k’ebyokulonda kategese okulonda abakulembeze b’abakyala ku byalo okwetoloola eggwanga ate Basentebe b’ebyalo balondebwe November 21, 2017.

Okulonda kw’olwaleero kubadde lwakulonderako; owabakyala, omumyuka we, omuwandiisi, owamawulire n’omuwanika.

Ab’ekkanisa ya St. John’s Church Of Uganda e Kira bawandiikidde aboobuyinza nga basaba bakyuse ekifo awalonderwa bakiggye ku kkanisa webali mu kuzimba awali amayinja n’emitayimbwa kubanga abantu bayinza okutabuka ne beetusaako obulabe.

Rev. Andrew Nalumenya mu bbaluwa gye yawandiikidde ssentebe w’akakiiko mwe yasabidde okukyusa ekifo.

Ebbaluwa ya Nalumenya yawerekeddwa amabaluwa gaabakulembeze abalala mu kitundu. Aba Namataba Kirinya baawandiikidde division y’e Bweyogerere nga beemulugunya ku Baveteraani abaasenga ku ttaka ly’ekibira e Bukasa ne Namataba Kikko zooni gye batuuma (Lost city).

Bagamba nti bano ebbanga lye bamaze mu kitundu ttono ate bajja nga bakyewaggula ne batondawo LC ezaabwe.

Wabula Francis Muhinda Kagoro amyuka akulira ebyokulonda mu Kira yabaanukudde n’abategeeza nti okusinziira ku tteeka lya gavumenti z’ebitundu, emitendera omulina okuyitibwamu okutondawo LC gimanyiddwa nga mu kiseera kino obudde buyise tebayinza kutondawo kyalo kipya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gaba 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA ALEESE GANO...

Museveni afulumizza pulaani kakongoliro ku byokwerinda era n’alangirira nti eby’okutemula Kaweesi y’abyekwatiddemu....

Goba1 220x290

'Abasika mukomye okwezza ebintu...

Paasita Luciano Ronald Kivumbi owa Real Liberty Church, Luteete awadde amagezi abasika okukomya okweza ebintu...

Pala3 220x290

Muloope Abapoliisi abeenyigira...

PULEZIDENTI Museveni agambye nti obumu ku bumenyi bw’amateeka obugenda maaso mu ggwanga bwenyigiddwamu n’abamu...

Bika 220x290

UCU erwanira Women's Cup

UCU Lady Cardinals erina omukisa okuzza ku nsimbi ze yasaasaanya okukansa bassita ba ttiimu y’eggwanga abasatu,...

Twala 220x290

Eng'onge eri ku Ngabo

BAZZUKULU ba Nakigoye Abekinyomo, baakamudde aba Kisoro (Abehhonge), entuuyo mu mpaka z'emipiira gy’Ebika by'Abaganda...